ABADDUKANYA ekifo ekisanyukirwamu ekya The Hive ekisangibwa mu kibuga Mukono bavuddeyo olunaku lw’abagalana ne baluteekamu ebinonoggo, nga basazeewo okuteekawo ebirabo eri abagalana abagenda okujja mu kifo kyabwe ku Lunaku lw’abagalana olumanyiddwanga (Valentines Day). nga kwotadde okukendeeza ku bisale ku by’okulya saako ne by’okuywa.
Ekifo kino kisangibwa mu Kibuga kye Mukono okuliraana offisi z’ebyettaka (LAND OFFICES) era nga balina ekifo awasimbwa ebidduka ekimala.
OKusinziira ku akulira ekifo kino Ashraf Kasirye agambye nti bamaze okutegeka eby’okulya n’okunywa ebimala, saako n’okukendeeza ku gimu ku miwendo gye babadde batundirako ebintu byabwe okusobozesa abagalana okwetaayiza obulungi mu kifo kyabwe.
Agambye nti kuluno bamaze okutimba ekifo kyonna mu kkala emyufu ne nzirugavu nga kwotadde okukiyoyoota kyonna, okusobola okutuukana n’olunaku lw’abagalana olukwatibwa buli mwaka mu Nsi yonna.
Anyonyodde nti abantu baabwe naddala abakozesa wayini amanyiddwa nga FOUR COSSINS ne ROBERTSON nga bulijjo eccupa ebadde etundibwa emitwalo 100,000/= basazeewo ku lunaku luno abagalana bagifunire ku mitwalo 90,000/= zokka okubasobozesa okunyumirwa olunaku lwabwe nga tebonoonye nnyo nsimbi.
“Abawomerwa ka wayini kaffe akamanyiddwanga BELAIRE ne DOUBLE BLACK, ezibadde zigula emitwalo 270,000/= abagalana bajja kuzifunira ku 250,000/= zokka banyumirwe olunaku lwabwe, ate era tusazeewo okuddiza ku bantu baffe abatuwagira nga abagalana abanasinga okwambala obulungi tujja kubawa ebirabo bingi omuli n’ebyokunywa eby’ebeeyi banyumirwe olunaku” Kasirye bwe yagambye.
“Tusuubira abantu bonna okujja nga banekedde mu ngoye zaabwe eza kkala emyufu ne nzirugavu, naffe bajja kusanga nga twetegese okubawereza buli kimu omuli eby’okulya ebya buli kika n’ebyokunywa nga ne ba DJ baffe ab’omutawaana okuli DJ Kendi ne DJ Stylas bombi bakubeerayo nnyo okusanyusa abagalana.” Kasirye bwe yayongeddeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com