OMUDUMIZI wa Poliisi ye Ggwanga Martin Okoth Ochola avuddeyo naategeeza nga eguzi mu baselikale ba Poliisi naddala abali ku madaala ag’awaggulu bwe kikyali ekizibu mu kitongole.
Ochola agamba nti yadde ebizibu bakyalina bingi eby’okukolako, naye enguzi ekyali yamaanyi mu kitongole kyakulira, naddala mu kweyimirira abantu ababa bakwatiddwa, ebbaluwa za Poliisi, okutunda ebintu ebiba bikwatiddwa Poliisi ne bibulako bannanyini byo, okugezza emisango ne kigendererwa ekyokunyaga sente saako, no’okusolooza ab’emmotoka ku makubo.
“Omwaka oguwedde nalagira akulira eby’ebidduka Dr. Steve Kasiima anonyereze kku baselikale b’okunguudo 100, oluvanyuma lw’abagoba b’ebidduka okuwaaba emisango emiyitirivu mu ofiisi yange.” Ochola bwe yategezezza.
Okwogera bino yabadde ayogera eri abaselikale ba Poliisi abali ku maddaala ag’awaggulu, n’abakulira ebitongole bya Poliisi ku mande mu musomo ogw’ategekeddwa okusobola okubabangula saako n’okufuna obukugu obw’enjawulo ogwabadde ku ttendekero lya poliisi elisangibwa e Bwebajja mu Wakiso.
Yagambye nti bakizuula nga abaselikale 20 baali beenyigira mu kulya enguzi, nti era abamu ne batuuzibwa ku katebe nga bwe balinda okuvunanibwa, ate abalala ne bakyusibwa ne batwalibwa mu byalo.
Omwaka oguwedde Ochola yayimiriza enkola y’okusasuza ensimbi abantu ababa baagala ebbaluwa za Poliisi, naye kino abaselikale abasinga bakizimuula era nga kati basasuza abantu ensimbi eziri wakati 1,000 ne 2000, era nga bagenda mu maaso ne babasaba ne nsimbi okufuna akakalu ka Poliisi.
Yenyamidde olw’abaselikale banne ab’enyigidde mu kutyoboola eddembe ly’obuntu, okulemesa akagenderere okunonyereza ku misango nga bwe girina okuba, empisa embi ne bilala nagamba nti bino tebilina gye bijja kubatwala okujjako okwonoona amannya gaabwe.
“Bino byonna tetugenda kubikkiriza era omuntu yenna anakwatibwa nga yenyigidde mu mbeera eno, omulimu ajja kugufuuwa mu ngombe'” Ochola bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com