OLUKIIKO lwa ba Minisita ba Uganda Lukungubagidde eyali Omulabirizi wa Busoga Cyprian Bamwoze eyafudde olunaku lwe ggulo.
Bwe yabadde ayogerako gye bali ku Ofiisi za Ssabaminisita eggulo mu Kampala, abakulira Dr. Luhakana Rugunda yagambye nti okuva bwe bawulidde amawulire gano benyamidde nnyo, era nagamba nti Gavumenti egenda kwetaba buterevu mu ntekateeka z’okuziika okulaba kuba kwa kitiibwa.
Yasabye ba Minisita bonna okusooka okuwaayo akaseera okusilikirira okusobola okujjukira omwoyo gw’omugenzi saako n’emirimu gye yakolera eggwanga okutwalira awamu era ne balonda Hon Kirunda Kivaejinja okubeera omukwanaganya wakati w’obulabirizi ne Gavumenti.
Yo pulogulaamu y’okuziika nayo efulumye nga ku lw’okuna nga 14 wagenda kubaawo okusaba mu lutikko ya Paulo omutuukirivu e Namirembe ku ssawa 4:00 ez’okumakya, ku 8:00 ez’olweggulo atwalibwe ku Palimenti ababaka okusobola okumukubako eriiso saako n’okumwogerako, ate ekiro atwalibwe e Nakakabala ekisangibwa mu Disitulikiti ye Kamuli gyagenda okuziikibwa.
Nga 15 Feb. 2019 wajja kubaawo olukiiko olutesiteesi mu makaage e Nakakabala, ate ku lw’omukaaga nga 16, waberewo okusaba e Nakakabala ku ssaawa 4:00 ez’okumakya, olw’eggulo atwalibwe mu Busoga Lukiiko e Nakabango Bugembe, bwanavaayo wajja kubaawo okusaba mu kiro ekikeesa olw’essande mu lutikko e Bugembe.
Ku ssande aziikibwe ku lutikko e Bugembe ku ssawa 7:00 ez’emisana.
Olukalala lw’abalondeddwa okuddukanya entekateeka y’okuziika be bano wammanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com