ABAKULISTAAYO mu Bulabirizi bwe Busoga baakeredde mu kiyongobero oluvanyuma lw’okuwulira amawulire nyi eyali Omulabirizi waabe Dr. Cyprian Kakuni Bamwoze afudde.
Omulabirizi Bamwoze okufa kiddiridde okumala akabanga nga atawanyizibwa obulwadde bw’omutima, era nga abadde atemera mu gy’obukulu 80 n’omusobyo.
Ono ajjukirwa nnyo mu biseera bye myaka gye 90 okukulemberamu omulimu gw’okubunyisa enjiri ya Kristo mu Bakulistaayo abali mu Kitundu kye Busoga, era nga yayamba abantu bangi okuyingira mu kkanisa saako okuyambako mu kusomesa abaawule abawerako mu Busoga.
Era ono yawanirira nnyo ebitongole bye kkanisa okuli eky’ebyenjigiriza n’obulamu kubanga amalwaliro n’amassomero ag’ekuuza ku kkanisa gayongera okututumuka saako n’okutambuza emirimu obulungi.
Omusumba Andrew Paulo Muwanguzi amwogeddeko nga abadde omubulizi w’enjiri kayingo nga kwotadde okwagaliza ennyo abantu mu kitundu kye Busoga okwegatta.
Ebilala tujja kweyongera okubimanya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com