EKIZIMBE kya satellite beach e Mukono kye kimu ku bizimbe ebisinga obukyafu mu kibuga kye Mukono, yadde nga kiriko abantu abakikolerako bangi ddala.
Ekizimbe kino kiriko Banka bbiri okuli FINCA ne Bank of Baroda naye kyewunyisa nti tekirina kifo kikyamirwamu kyamulembe (Toilet) era nga obusiko obukirinaanye abantu abasinga bwe bakozesa okweyambiramu.
Kino kiliko buli kika ky’abyabusubuzi, bu wooteeri obutunda emmere, zi saluuni, amadduuka agatunda engatto, ebifo awakubirwa ebifananyi, ebbaala ennene nga kwotadde ne kifo awategekerwa ebivvulu.
Waggulu waakyo eriyo zi kabuyonjo nga wadde zaali nnungi mu biseera bye mabega, kati zonna zaayononeka era nga ziwunya ekivundu ekyamaanyi kyokka ekyewunyisa nga zaakusasulira.
Wansi eriyo kabuyonjo endala ey’okusitamako egendamu abantu abakolera wansi, naye eky’enyamiza nkyafu nnyo ate nga yakusasulira 300/= ne 500/= buli agendayo.
Bwotunulira ekizimbe kino mu maaso olaba nga kilabika bulungi era nga kisikiriza omuntu aba akiyitako naye bwotuuka munda ne wabweru waakyo, tokkiriza nti amatiribona agali wabweru ogagerageranya ne munda.
Emidumu gyakyo egitambuza kazambi gyonna egisinga gy’ayabika era nga givulula saako n’okuwunya ekivundu ekyamaanyi ate nga n’obubi bwonna buvulula kungulu.
Emabega waakyo eriyo entuumu ya kasasiro ensowera ne nvunyu mwe byetaayiza, ate nga kivaamu amazzi agawunya ekivundu agakulukuta, ekireseewo okutya nti bino byonna byandivaako eddwadde eziyinza okuzinda abatuuze abakolera ku kizimbe kino nga kwotadde n’abalinanyewo.
Abatuuze abakikolerako bagamba nti bamaze ebbanga lya myaka nga 10 nga beemulugunya ku nsonga y’obukyaafu eri abakitwala kyokka nga tebafaayo.
Nga n’olumu baayagala okukiggala naye bannanyinikyo ne babatisatiisa okubagoba ssinga bakikola.
Baagezaako okwekubira enduulu eri abatwala eby’obulamu mu Munispaari ye Mukono, naye tebafuna kuyambibwa.
Akulira eby’obulamu mu Munisipaari ye Mukono Dr. Anthony Kkonde bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yagambye nti bagenda kulambula ekizimbe kino era bawe ebilagiro eri bannanyini kyo babeeko bye batereeza, nga bwe kinabalema mu wiiki emu yokka ekizimbe kyakuggalwa.
Satellite Beach Building yali ya Musubuzi Joseph Kayiwa oluvanyuma n’akiguza Omusubuzi Moses Kalangwa kati akiddukanya.
Kawefube w’okwogerako ne Moses Kalangwa yagudde butaka olw’obutakwata ssimu ye emanyiddwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com