EKITONGOLE ky’amawulire ekya NBS munnamawulire Solomon Serwanja gy’akolera kyanukudde ku mbeera y’okukwata Mukyalawe ne bannamawulire ba BBC abalala, abakwatiddwa mu kiro eky’akesezza olw’okuna.
Bano kwabaddeko Kassim Muhammad, Rashid Kaweesa, Godfrey Badebye ne ddereva waabwe amanyiddwanga Shafiq.
Poliisi egamba nti bano okukwatibwa kyaddiridde okufuna okumanyisibwa nga bwe waliwo abantu abaabadde betegese okubba eddagala lya Gavumenti, balitunde, nti era okunonyereza kwabwe kabasudde ku maka ga Solomon Serwanja okusinziira ku mwogezi wa Oliisi mu Kampala ne miriraano, Patrick Onyango.
Abakulira ekitongole kya NBS Serwanja gyakolera kivuddeyo ne kitangaaza ku mbeera eno, nga bagamba nti sabbiiti bbiri emabega bakola omukago n’ekitongole ky’amawulire ekya BBC okusobola okukolaganira awamu basobole okulwanyisa enkola y’okubba eddagala mu malwaliro ga Gavumenti, oluvanyuma lw’okukizuula nti abakungu bangi mu kitongole kye ddagala baali beefunyiridde okulinyaga ne balitunda.
Era bannamawulire okukwatibwa baabadde bali ku lunaku olusembayo okumaliriza okunonyereza kwabwe ku nsonga eno nga ekyabadde kisigalidde kwe kuteeka bye baafunye ku mpewo ensi ebilabe mu kiseera ekyo we babakwatidde.
Bategezezza nti bakola ekisoboka kyonna okulaba nga banunula bannamawulire baabwe saako naaba BBC.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com