OMULABIRIZI w’e Mukono, James William Ssebaggala alabudde abazadde naddala abalina abayizi abaatudde ekibiina ekya P.7 okw’egendereza mu kaweefube gwe balimu ow’okunonyeza abaana baabwe amasomero gye banaasomera S.1 n’abo abali mu bibiina ebirala.
“Tuwulira abazadde abaabadde n’abayizi abatuula eky’omusanvu mu masomero agali mu bibuga agaludde nga geeriisa nkuuli mu kuyisa abayizi kyokka nga ku mulundi guno tekyasobose, nga kati bali mu kwemulugunyiza kitongole kye bigezo mbu babadde baasasula ensimbi nnyingi ate abayizi baabwe ne batayita nga bwe babadde basuubira, nze omusango ngusalira bazadde abo bennyini,” Bp. Ssebaggala bwe yategeezezza.
Okwogera bino, Bp. Ssebaggala yabadde ku ssomero ly’Obulabirizi erya Bishop West P/S nga lyebaza Katonda olw’okuyisa obulungi abayizi mu PLE ssaako okukwasa abayizi amabaluwa gaabwe.
Omukulu w’essomero lino Lydia Nakachwa yategeezezza ng’essomero bwe lyatuuza abayizi 22 nga 16 baayitidde mu ddaala lisooka ate 6 ne bayitira mu ddaala ery’okubiri.
“Tetuyinza kukkiriza mu masomero gaffe bikolwa byabulyake, obuseegu gamba ng’okukabassanya abayizi bye tuwulira mu masomero amalala n’emize emirala agyetabangamu asookanga kusiibula,” bwe yalabudde
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com