KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asazeewo okusisinkana abagagga abasibuka mu Ssaza lye Ssingo abali mu kugugulana ensangi zino ekintu kyagamba nti tekiwa kifaananyi kirungi naddala nga Kabaka ayagala abantu be okubeera obumu.
Omwogezi w’Obwakabaka era Minisita w’amawulire e Mmengo, Noah Kiyimba ategeezezza nti Katikkiro yategedde ku nsonga z’obutakkaanya obuliwo wakati w’abakungu ba Kabaka, John Fred Kiyimba Freeman nga ye Ssentebe w’olukiiko lwa Buganda Twezimbe ne Emmanuel Ssembusi Butebi ng’ono mmemba ku lukiiko luno, nabakubira ku ssimu okwongera okumanya obutakkaanya bwabwe we buva.
“Katikkiro asazeewo okuyita abakungu bano okubataataganya kubanga si kirungi abantu abakulu eggwanga beribadde liwa ekitiibwa okweyuzayuza mu lujjudde bwebati. Obutasukka nnaku bbiri agenda kuba abasisinkanye okugonjoola ensonga eno,” Kiyimba bweyategezezza.
Minisita Kiyimba yayongedde n’ategeeza nti Obwakabaka bwagala okulaba ng’abantu baabwo babeera bumu ng’abakulembeze bwebatandika okweyuzayuza kibeera kitiisa n’ategeeza olw’obutayagala mbeera efanana bweti, Kabaka kyeyava asiima n’atongoza engoma Buganda Bumu mu 2011.
Kiyimba yagambye nti alina essuubi nti ekya Katikkiro okusisinkana abakulu bano kyakwongera okuleetawo embeera ey’okutegeragana wakati waabwe n’abantu enkumu ababawuliriramu ate n’olwokusobozesa emirimu gyebakolera Obuganda okugenda mu maas
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com