Omusango guno gubadde gw’akutandika okuwulirwa olw’aleero era nga oludda oluwaabi lubadde lulina okuleeta abajulizi abajulizi, kyokka looya wa gavumenti Fatina Nakafeero n’asaba gw’ongezebweyo mu lutuula lwa kkooti olunaddako.
Mu misango egya nnaggomola nga ogw’obuttemu, oludda oluwaabi lulina okuwa balooya b’abavunaanibwa obujulizi bwonna omuli sitetimenti n’ebizibiti bye bagenda okwesigamako kisobozese abavunaanibwa okugoberera obulungi omusango n’okutegeka engeri gyebanewozaako.
Omulamzi Mubiru yagambye nti abuzaayo wiiki emu yokka okumaliririza emisango egy’amuweebwa okulamula agisale olwo alyoke adde e Ntebe gy’alamulira nga mu mbeera eno tajja kusobola kufuna budde buwulira musango gwa Kanyamunyu.
Kati fayiro ya Kanyamunyu yaakuweebwa omulamuzi omulala mu lutuula lwa kkooti olwenjawulo olunnaddako nga kino kiyinza okutwala emyezi oba omwaka.
Ettemu lino lyaliwo nga November 12, 2017 okumpi ne Lugogo.
Kigambibwa nti omugenzi Kenneth Akena yakolobola emmotoka ya Kanyamunyu mwe yali ne muganzi we Munwangari era okumubonereza yaggyayo mmundu n’amukuba amasasi kyokka bwe yalaba ng’anaatera okufa n’amuddusa mu ddwaliro lya Norvick.
Kigambibwa nti emmundu eyakozesebwa mu ttemu Kanyamunyu yagikwasa muganda we Joseph Kanyamunyu n’agikweka era ono naye avunaanibwa ogw’okuyambako munne.
Akena bwe yali tannassa gwa nkomerero mu ddwaliro lya Norvick kigambibwa nti yalonkooma Kanyamunyu nti ye yamukuba amasasi n’ensonga eyamukubya poliisi kwe kubakwata n’ebaggulako ogw’obutemu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com