ABATUUZE ku byalo okuli Nakisunga, Lubugumu ne Namayiba ebisangibwa mu gombolola ye Nakisunga e Mukono beemulugunya, oluvanyuma lw’ekitongole ky’amazzi mu ggwanga (NWSC) okulwawo okubasasula ensimbi z’ebabalirira mu bifo byabwe emidumu gy’amazzi agagenda okuva e Katosi okudda e Kampala we gilina okuyita.
Bano bagamba nti ekiseera kiyiseewo nga abakulu b’ekitongole ky’amazzi babasuubiza okubasasula naye nga ensimbi tezituuka mu ma bbanka gye baalina okuziteeka ate nga tebalambulula bulungi nsonga lwaki tebakikolako.
Juma Kabenge omu ku baatataganyizibwa omulimu guno agamba nti ekitundu ku ttaka lye ekisinga obunene kyatwalibwa Pulojekiti eno, kyokka akanze kulinda bamutereyo ssente mu banka nga talaba, ekimuletedde okutya nti engeri emirimu gye gigenda mu maaso awatali kanyego okuva mu bakulira ekitongole ky’amazzi mu ggwanga bayinza okuviiramu awo.
Yayongeddeko nti bamaze ebbanga ddene nga batuuza enkiiko era nga bagenda okuzivaamu nga balaba nga awali essuubi kyokka bakanda kulinda ku akawunta zaabwe nga tebalabako kintu kyonna.
“Emirimu gy’ekitongole gigenda mu maaso, kyokka ffe bakyagaanyi okutukolako ate nga ebyaffe byonna babyonoona, ne batuuka n’okusima ebinnya ebinene omugenda okuyita emidumu nga tebanatusasula, ekiddako singa tebatusasula mu budde tugenda kusala amagezi butya bwe tubalemesa okutuusa nga batukozeeko.” Kabenge bwe yategezezza.
Minisita avunanyizibwa ku nsonga z’amazzi Ronald Kibuule bwe yatukiriddwa ku nsonga eno yagambye nti abadde amanyi nti ensonga zino zaggwa dda, kyokka naasaba abatuuze okuba abakkakkamu era beekolemu omulimu bawandiike mu butongole ensonga yaabwe ekolebweko mangu ddala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com