OMWANA Anthony Ssemakadde ow’emyaka 14 abadde asomera ku ssomero lya Crystals Junior School elisangibwa ku kyalo Nakapinyi mu gombolola ye Nama e Mukono bwanyumya butya engeri obulwadde bwa kkansa gye bwali bumulemesezzaamu okutuula ekibiina ky’omusanvu tolemwa kwewunya butya bwe yasimattuka.
The Watchdog Uganda yamutuukiridde bwe yabadde yakamala okufuna amawulire nti ayitidde mu ddaala erisooka, bwatyo mu ssanyu ne yegattibwako Kitaawe Erisa Ssebaale, era nga ye Ssentebe we gombolola ye Nama, ne boolekera essomero okukakasa amawulire.
Ssemakadde agamba nti esuubi lyali limuweddemu olw’obulwadde obwamutawanyanga buli kaseera, nti era yegombanga nnyo bato banne be yalabanga nga bagenda ku ssomero yye nga asigala waka olw’engeri gye yali alimu nga talina maanyi.
“Mu butuufu ennaku yannumanga naye nga silina kya kukola kubanga nali ndabika bubi nga nafuuka muddugavu nnyo, era nga ne bazadde bange balinga abaali baweddemu essuubi nti sikyazzemu kusoma, wabula munda mu nze nawuliranga ekirowoozo nto luliba olwo ne mpona era ndiddamu okusoma.
Wabula Omusawo we mulago mu kitongole kya kkansa Dr. Lawrence Mukhooli buli kaseera yanzizangamu amaanyi, wamu ne kitange nga bangamba nti nja kuwona nziremu mbeere nga abaana balala wabula nga mbeera nsaba Katonda anyambe mpone.
Nalina ekintu ekyali kyankwata mu bulago nga kirebeeta era nga buli we nkiraba kimpisa bubi era nga n’abaana abalala bandaba ne beekanga olwe ngeri gye nali ndabikamu, olwali olwo taata nantegeeza nti Ssemakadde bagenda kukulongoosa! wano natya nnyo kubanga nalabanga abantu e Mulago nga bafa kumpi buli kaseera mu bbanga erye myaka 2 gye namala nga nfuna obujjanjabi mu kitongole kya kkansa.
Naye bwe baamala okunnongoosa nafuna ku buwerero, era nagenda okulaba nga nfunyemu ku maanyi ne ngamba taata nti njagala kuddamu kusoma, nantegeeza nti talina mutawaana.
Yantwala ku ssomero lya cyristals Junior School ne ntandikira mu kibiina ky’okutaano we nali nkomye okutuusa bwe nategedde nti nfunye obubonero 7 ekinkoze obulungi ennyo, kati njagala kwegatta ku ssomero lya Seeta High School nsome nnyo ebya science nsobole okuyita obulungi siniya eyo 4 ne 6 nsobole okugenda ku yunivasite nsome obwa Dokita nzireyo e Mulago nzijanjabe abantu abafa kkansa” Ssemakadde bwe yategezezza.
Kitaawe Erisa Ssebaale yagambye nti bwe yawulira nti omwanawe kituufi kkansa yamuluma amaanyi gamuggwamu, naye agamba nti yasabanga kimu afune sente z’obujjanjabi abasawo bafube bakole ogwabwe kuba yali ayagala awone kubanga yali mugezi nnyo mu kibiina.
Agamba nti kino yabadde akisuubira kubanga we yakoma weyatandikira nga azzeemu okusoma, nti era nabasomesa babadde bamugamba nti ajja kukola bulungi nga amwesiga.
Akulira essomero lya Crystals Racheal Amwatoko Lukwago yagambye nti Ssemakadde baasoka ne balowooza nti ayinza obutakola bulungi olw’ebbanga lye yali amaze nga tasoma, nti era mu kusooka yali amulabye nga omugonvu ennyo naye oluvanyuma lwa kitaawe okubakakasa nti yali ajja kukola bulungi baasalawo okumuwa ekifo.
“Ssemakadde abadde mwana mulungi ayagala ennyo okusoma, nga kino twakilabirawo nti yali ajja kukola bulungi naddala mu lusoma olwasooka nga tuli naye, kyewunyisa nti yoomu ku batuwesezza ekitiibwa nga essomero era tujja kugezaako okumulondoola yonna gy’anagenda.” Mukyala Lukwago bwe yategezezza.
Mu bayizi abala abaakoze obulungi mwabaddemu Ttende Simon eyafunye obubonero 6, Isa Matovu Okurut, eyafunye 10, Nsubuga Hakim 10 nabalala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com