NALULUNGI w’eGgwanga ne Africa yonna Quin Abenakyo akoonodde diguli mu by’obusubuzi okuva mu yunivasite ye Makerere naasubiza okw’eyongerayo ne misomo gye.
Abadde asisinkanye akulira ettendekero lye Makerere Prof. Barnabas Nawangwe mu offisi ye, bwabadde tanagenda mu kifo webategekedde emikolo gy’okutikkira olutikkira olw’omulundi ogwe 69.
Abenakyo ono abadde asomera ku ttabi lya Makerere ery’eby’obusuubuzi e Nakawa, era nga yoomu ku batikkiddwa olwaleero ne bayizi banne abalala mu kibangirizi ekimanyiddwanga Freedom Square.
Oluvanyuma lw’okuwangula engule ya Africa saako n’okukwata eky’okusatu mu nsi yonna Abenakyo yalondebwa okuba Ambasada w’ebyobulambuzi mu ggwanga era nawangula ekirabo okuva ewa Minisita Godfrey Kiwanda nga omu ku basinze okutunda Ensi Uganda ebweru.
Pulofeesa Nawangwe amusabye bulijjo okubeera omwana omulungi era ow’empisa, namusaba okwewala amalala, gayogeddeko nga agayinza okumusuula ekigwo.
Abenakyo asuubizza okw’eyongerayo n’emisomo gye egy’ebyobusuubuzi saako n’okuyamba abaana abawala mu Ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com