ABATUUZE b’okukyalo Isingila ekisangibwa ku bizinga bye Ddolwe mu Disitulikiti ye Namayingo baguddemu ensisi Ggoonya eyakula n’ewola bw’ezindukirizza mutuuze munaabwe ne mulya nelekawo mukono gwokka era gwe baaziise.
Suzan Akullo yeyafudde era nga abadde ali olubuto olw’emyezi 8 era nga mukyala mufumbo ne mwami we Charles Odoi, era nga babadde n’abaana abalala 2.
Okusinziira ku batuuze bagamba nti mu ttuntu ly’okulw’okusatu Suzan ne bakyala banne baagenda ku nnyanja okukima amazzi nga eno ggoonya gye y’amubakira bwe yali asena amazzi okumpi n’olubalama, nti era wano yagezaako okulwana kyokka nga emunywezezza nnyo ate nga ne banne olw’alaba nga emukutte ne badduka.
Bagamba nti amangu ago bakuba enduulu eyasomboola abatuuze ne balwanagana nayo okukkakkana nga bagisuuzizza omukono gwokka gwe baziise ku kyalo Isingila.
Amyuka omubaka wa Gavumenti mu Disitulikiti ye Namayingo Majid Dhikosooka yagambye nti mu kitundu kino goonya nnyingi nnyo nti era afunye amawulire nti abatuuze abawerako zibalidde ne basaanawo, ate abalala bafuuka balema olwe bisago eby’abatuusibwako goonya zino wakati mu kwetaasa okubalya.
Yanyonyodde nti bagenda kutuukirira be kikwatako mu kitongole kye by’obulambuzi basobole okujja bayigge goonya zino bazikwate zitwalibwe gye bayinza okuzikuumira okusobola okuwonya abatuuze mu kitundu kino abali mu ntiisa etagambika.
Mu kitundu kino mulimu goonya nnyingi era nga abatuuze baayo bakifuula kyabulijjo singa ziba zilidde omuntu yenna.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com