OMUKUBIRIZA w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Kadaga atabukidde ababaka b’oludda oluvuganya mu Palimenti bayogeddeko nti basusse okumupeeka okuwummuza Kantuntu ku by’okukulira akakiiko akanonyereza ku nkola ye mirimu mu bitongole bya Gavumenti (COSASE) nagamba nti ye, tewali muntu amubuulira kya kukola bwaba akola omulimu gwe okujjako ye kenyini okumala okulowooza oluvanyuma nasalawo eky’okukola.
“Nze buli kye nkola nkikola ku lwa bulungi bwa Ggwanga lyaffe, kale abalowooza nti buli kimu bajja kukifuula kya byabufuzi, ebyo babiveeko kubanga nze nina kukola bintu nga bwe bilina okuba.
Sigamba nti Katuntu talina kukyusibwa wabula twagala amale okumaliriza emirimu gy’abadde akola, era atuwe ne zi lipoota ezivudde mu kunonyereza kwabadde akola olwo nange ndyoke nkwase abanamuddira mu bigere.
Era okusinziira bwe namaze okwetegereza nakizudde nga kyabadde kyetaagisa okwongezaayo akabanga katono, Katuntu ne banne bamalirize buli kimu olwo balyoke omulimu bagukwase abantu abaalondebwa okudda mu bigere byabwe okuli Omubaka wa Kawempe Mubarak Munyagwe ne Moses Kasibante.” Kadaga bwe yategezezza.
Yanyonyodde nti ekisanja kya Katuntu kyayongezeddwayo okutuuka nga 13 omwezi guno, okutuusa nga amalirizza omulimu ogwamukwasibwa okunonyereza ku mivuyo egy’etobeka mu kutunda zi banka 5 okuli ne ya Crane, oluvanyuma akwase olukiiko lwe ggwanga alipoota enzijuvu.
Akulira oludda oluvuganya mu Palimenti Betty Aol Ochan ne Nampala w’oludda oluvuganya Ssemujju Nganda, ennaku zino babadde bali bubi Kadaga alagire Katuntu awummule.
“Nze nkulira olukiiko lwe Ggwanga olukulu, era byonna ebikolebwa wano nze mbivunanyizibwako, buli kye tukola tukola ky’abantu abatuteekamu obwesige, tewali kikolebwa wano nga kyamuntu sekinoomu oba nga kya kibiina kyabyabufuzi” Kadaga bwe yayongeddeko.
Mu kusooka akulira oludda oluvuganya Betty Ochan yabadde asabye akakiiko ka COSASE okukutulwamu ebitundu 2 batondewo akakiiko akatono tono kagira kakola ku nsonga za banka enkulu, abalala bakwasaganye emirimu emilala wansi wa Munyagwa, kyokka Kadaga kino nakigaana nga agamba nti teri kakiiko katono katondebwawo nga kaweza ababaka 30, kubanga kiba kimenya amateeka agafuga obukiiko bwa Palimenti.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com