MINISITA omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z’abaana n’abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi akangudde ku ddoboozi, n’alagira Sheik Umaru Kamoga eyeyita omusomi we dduwa ku masitoowa e Nansana okuzzaayo omuwala ow’emyaka 17 gwe yazaalamu omwana mu ttendekero lya YMCA gye yali asomera asobole okumaliriza emisomo gye yaliko n’amutataaganya nga tanamaliriza.
“Kye nsazeewo olw’okuba Umaru ono afuuse musajja muzibu eri omwana ono eyali taneetuuka gwe yazaalamu, kwe kulaba nga muwaliriza amuzzeeyo ku ssomero gye yali asomera amalirize emisomo gye, ate tagendanga kubanja, kuba tukikoze bulungi ne mpapula okusasulirwa zonna tuzimuwadde, nga kati ekyetagisa ye mwana okutandika okusoma okutuusa bwanamalako.
Kino nkikoze kibeere eky’okulabirako eri abasajja abagufudde omuze okusendasenda abawala abato ne babazaalamu, ate ne batabalabirira, nga bambi olumu bafiirwa ne biseera byabwe eby’omumaaso olw’okuleka emisomo gyabwe mu kkubo.
Era Sheik Umaru nsazeewo asasule sente zonna ez’eddwaliro obukadde obubiri ne kitundu ezibadde zibanjibwa bakadde b’omuwala ezaali ez’okumulongoosa nga kwotadde n’okumuwanga buli mwezi emitwalo 300,000/= ez’okulabirira omwana we nga tajja kuddamu kujula.
Kuno agenda kugattako okuwulizanga omwanawe we saako n’okutwala obuvunanyizibwa nga taata sso ssi kutuula eyo n’alatta nga alinga atazaala ebyo nabyo seetaaga kuddamu kubiwulira.” Nakiwala bwe yategezezza.
Bino babituuseeko ku lw’okusatu mu offiisi ya Minisita oluvanyuma lw’amaama w’omuwala Mariam Nakyanzi okwekubira enduulu ayambibwe ku Sheik Umaru Kamoga eyafunyisa muwala we olubuto kyokka n’amusuulawo n’agaana n’okulabirira omwana gwe yamuzaalamu.
Nakyanzi nga naye mutuuze we Nansana yagambye nti Sheik Umaru abalabizza ennaku etagambika nga n’olumu yabakkudalira nti baavu nnyo tasobola kubawa ssentte kuba tebalina kye bagenda kuzikozesa, kyokka nga akimanyidde ddala bulungi nti omwana we yali muto ate nga akyasoma.
Mukwanukula Sheik Umaru byonna yabikkirizza era n’awaayo ensimbi ez’asobye mu bukadde 3 mbagirawo, kubanga mu kusooka Minisita yabadde alagidde akwatibwe singa tasasudde ensimbi ezo mu bwangu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com