MUNNAMAGGYE eyawummula Gen. Wasswa Kasirye Ggwanga alabudde abeby’okwerinda okukomya okutulugunya omubaka wa Kyadondo East Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwanga Bobi wine nti kubanga mwana wa Gavumenti eri mu buyinza eya NRM olwa kitaawe n’aboluganda lwe abeetaba obutereevu mu lutalo mu mwaka gwa 1985.
Ggwanga agamba nti Kitaawe wa Kyagulanyi omugenzi Samson Ssentamu yali musaale nnyo mu lutalo naddala mu kitundu kye Kanoni mu Gomba nga eno ye yali akulira okukungaanya emmere abayekera ba NRA gye baanonanga ewuwe ne balya.
“Omwana oyo mwana waffe kubanga kitaawe yatuyamba nnyo mu lutalo era nze nga Major General Kasirye Ggwanga sandyagadde muntu yenna w’abyakwerinda kumutulugunya kubanga naye alina ensonga ze ezeetaaga Gavumenti okutunulamu zigonjoolwe”. Kasirye bwe yagambye.
Yayongeddeko nti olumu atunulira abamutulugunya n’okumwogerako ebikyamu nabajjukira nga mu kiseera ekyo baali basula mu mayumba gaabwe, nga kitaawe wa Kyagulanyi ne banne basala amagezi butya bwe bagenda okwejjjako abasibira mu bbwa mu kiseera ekyo.
Okwogera bino Kasirye yabadde ayanukula ku mbeera ey’obutakkaanya eliwo wakati wa Bobi Wine ne Poliisi ye Ggwanga, ekyaviiriddeko n’okugaana ebivvulu bye yabadde ategese mu nnaku enkulu byonna.
“Kye tulina okukola kwe kwebuuza ku mwana ono kiki kyayagala Gavumenti yaffe ekolere abantu baalwanirira, n’oluvanyuma bwe tukimala ensonga ze zonna zikolweko kubanga mwana waffe, ate ndabula ab’oludda oluvuganya Gavumenti nti nammwe mukomye okumwesibako kuba ssi wammwe, okujjako mwagala kumukozesa nga bwe muzze mukozesa abantu bwe bafuna obuzibu ne mudduka” Kasirye bwe yanyonyodde.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com