Bya Moses Kizito Buule
OMUMYUKA wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi akubirizza abazadde okufaayo ennyo okukuuma abaana baabwe naddala abawala okulaba nga tebafuna buzibu bwonna mu kiseera kino eky’oluwummula oluwanvu.
Yagambye nti ennaku zino abantu ab’emitima emibi beeyongedde obungi noolwekyo abazadde tebalina kusuulirira buvunaanyizibwa bwabwe.
Bino Ssekandi yabyogeredde mu kifo ekisanyukirwamu ekya Fusion Auto Spa ekisangibwa e Munyonyo mu munisipaali y’e Makindye gye yabadde ng’omugenyi omukulu ng’essomero lya Star Rise Primary School lijaguza emyaka kkumi.
Ssekandi yategeezezza ng’abazadde abasinga bwe beggyako obuvunaanyizibwa obw’okukuuma n’okulabirira abaana ne basalawo okubasindika mu byalo gye bayigira emize ne bakomawo nga ne bazadde baabwe tebakyasobola kubakakkanya nga bafuuse bakiwagi.
Omu ku batandisi b’essomero lino, Robert Ssemwogerere yeebazizza abazadde ababakkiririzaamu ne babawa abaana baabwe.
Ye meeya w’e Makindye Hajji Ali Nganda Mulyannyama yeebazizza abatandisi b’essomero lino kubanga bayambye ku gavumenti mu kusomesa abaana b’eggwanga.
Mulyannyama yagambye nti gavumenti erina amasomero matono ate ng’abaana abayingira mu masomero beeyongera buli kiseera n’agamba nti amasomero g’obwannannyini gakoze kinene okugatta ettoffaali ku kusitula omutindo gw’ebyenjigiriza mu ggwanga.
Yasuubizza okubawagira mu nteekateeka zaabwe.
Omukolo gwetabiddwaako n’abantu abalala bangi omwabadde ne Brian Kirumira amanyiddwa ennyo nga Bryan White eyaweereddwa ekirabo ky’okumusiima okubeera n’omutima amuyambi ogulumirirwa eggwanga n’okuyamba abatalina mwasirizi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com