Bya Moses Kizito Buule
ABADDE akulira ekibuga Kampala Jenifer Ssemakula Musisi asiibudde bannaKampala nga bwe yeyama gye buvuddeko.
Musisi yawandiikira Pulezidenti Museveni emyezi 3 emabega nga amutegeeza nga bwe yali asazeewo nga tawaliriziddwa okulekulira ekifo ky’obwa Executive Director bwe Kibuga Kampala, era n’agamba nti mu mwezi gwa Ntenvu yali ajja kwabulira offiisi ye, asobole okuwa omwagaanya omuntu omulala anaaba alondeddwa okuddukanya emirimu mu Kampala.
Ku lw’okutaano Musisi eyabadde anekedde mu Gomesi enjeru n’ekitambaala ekimyufu yayingidde ekitebe kya KCCA mu mizira okuva mu bakozi b’ekitongole, saako n’abemikwano nga bamuyozayoza olw’emyaka egisoba mu 7 gy’amaze nga addukanya ekibuga Kampala.
Ekyaddiridde kwe kukwaasa Minisita wa Kampala Betty Olive Namisango Kamya Fayiro omuli ebiwandiiko bye Kibuga, nga akabonero akalaga nti azizzayo obuyinza mu Gavumenti eyawakati gye yabujja.
Ku mukolo guno abakozi obwedda balinga bonna be babikidde, era abamu batuuse n’okwooza ku munnye nga balaba abadde mukama waabwe abalekawo.
Kigambibwa nti Musisi abadde yayingiza abantu bangi mu kitongole kya KCCA, era nga abadde yatondawo ne bitongole ebiwerako okusobola okw’ongera amaanyi mu nkola ye mirimu mu Kibuga.
Ono era kigambibwa nti abadde awadde nnyo emirimu Abaganda mu kitongole, ate nga muntu awuliriza nnyo abakozi bwe wabaawo ekitagenze bulungi mu nkola ye mirimu, nga yeemu ku nsonga lwaki abakozi bamusaliddwa nnyo.
Abamu ku bakozi abatayagadde kubatula mannya bategezezza nti Musisi yeyabayingiza ekitongole kya KCCA era babadde bamutwalanga nyaabwe, kubanga babadde bagendayo n’ebamusindira ebizibu byabwe n’abawuliriza era n’abayamba nga tabeeragiddeeko.
Musisi akoze ebintu bingi e Kampala naye bannaKampala banamujjukiranga olw’enguudo z’akoze, okuzimba emyala, okuzimba amalwaliro n’amassomero, obutale nebilala bingi.
Era ono anajjukirwanga olw’okuleeta amateeka amakakkali mu kibuga, nga muno abantu bangi basibiddwa mu makomera olw’okulinnya mu muddo ogwasimbibwa abakozi ba KCCA ogutakkirizibwa kulinyibwamu nga osala enguudo.
Ensonga ya batembeeyi nabo bajja kulwawo okumwelabira olw’okubagoba ku nguudo ez’enjawulo kwe baali banoonyeza ekigulira magala eddiba, saako n’aba Boda Boda bwe baasika omuguwa naye ku nsonga z’okwewandiisa.
Ono era yeyaleeta ekivvulu kya bannaKampala ekimanyiddwanga City Canival, nga eno abantu bajjanga ne badigida obudde okya nga teri asasudde yadde 100, kyokka oluvanyuma kyategerekeka nti Pulezidenti yakiwera nga yekengedde nti kyali kigenderamu ensimbi ezandikoze emirimu mu Kampala kye yayita okwejalabya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com