Bya Moses Kizito Buule
BRIAN Bagyenda mutabani w’akulira ekitongole ekikessi eky’amaggye mu Ggwanga Col. Kaka Bagyenda kyadaaki akkirizza nga ddala kituufu yatta muganziwe Enid Twijukye, era nasaba omulamuzi amukendereze ku kibonerezo.
Bagyenda ono nga yasoma by’akutabula ddagala alabiseeko mu kooti ne banne bwe bavunanibwa nabo okuli Innocent Bainomugisha ne Vicent Rwahwire abagambibwa okuba nti nabo baali kitundu mu kuzza omusango guno.
Oludda oluwaabi lugamba nti nga 4 omwezi gwa January omwaka 2017 ku luguudo Njobe mu Nakawa, Bagyenda ne banne ababiri beekobaana ne batta muganzi we Enid Twijukye, gwe baatugira mu maakage agasangibwa e Luzira nga amulanga okuba nti yalina omusajja omulala gwe yali agudde mu mukwano naye.
Wano Omulamuzi Ojok bino olumugudde mu matu nasooka naayimiriza okuwulira omusango guno okutuusa nga December 17, okutuusa nga enjuuyi zombi okuli oludda oluwaabi n’oluvunanibwa nga bazzeeyo mu maaso ge okumutegeeza kye batuuseeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com