Bya Nansamba Shadia, Kooki
OBW’AKAMUSWAGA, buttukkiza okuddamu okw’ekutula ku Mengo, nga bugamba nti ekigendererwa ky’endagaano eyakolebwa tekikyalina makulu.
Bino bituukiddwako mu lukiiko lw’amawulire olutuziddwa ku Royal Park e Kooki, Katikkiro wa Kamuswaga Haji Iddi Ahmed Kiwanuka bwakaatiriza nti endagaano eyakolebwa wakati wa Kooki ne Mmengo tekyalina mulamwa.
Mu nnamutayika w’ekiwandiiko ono kyasomye ategeezeza nti ebimu ebyali mu ndagaano eno kw’aliko okuwa Kamuswaga obukuumi, wabula nga Mengo teyakikola ng’akati gavumenti yewakati yebubawa era nga tebakyalaba nsonga lwaki bagende mu maaso n’okutijja n’Obwakabaka bwa Buganda.
Kiwanuka era alumbye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga gw’agambye nti yavuddeko embeera eno okusajjuka nga tawa Kamuswaga kitiibwa kyasaanidde kufuna era nayagala akaatirize nti Obw’Akamuswaga bw’etongodde n’amulabula okukomya okubutwala ng’agamu ku Masaza agakola Buganda.
Ono agamba nti mu 1966, eyali pulezidenti Dr Milton Obote yagyawo obukulembeze obw’ennono era nabo kyebakakasa nti ne ndagaano Mengo gyeyali ekoze ne Kooki yagyungululwa nga teyinza kugobererwa mu kiseera kino.
Kiwanuka yajjukiza Mengo nti wadde obw’Akabaka bulina mujaguzo,Kooki erina Butentwe ne Mayange era nga bino byebivuga ebikubibwa buli Kamuswaga lw’alabika eri abantu be natangaaza nti n’olubiri olujjuvu lutudde Sserinnya. Ono agambye nti bino by’ebimu ebiraga obw’akamuswaga obw’etongodde bwatyo nakaatiriza nti n’abakulembeze Mengo beyateeka mu kitundu kino buliwo mu bukyamu.
Anyonyodde ebimu ku bituukiddwako nga muno mulimu okuzimba n’okudaabiriza amasomero,amasinzizo n’okuwa abayizi basale eziwerera ddala 1000 , okutandikawo ekifo kyabadigize, okuzimba amalwaliro nga bakwataggana nebannansi ba America era nga n’eby’obulimi bagabye endokwa z’emmwanyi ezisoba mu kakadde kamu era nga abalimi bano bebamu Katikkiro wa Buganda beyagenda okulambula gye buvuddeko bwatyo nakakasa nti Kooki eyimiridde bulungi teyetaaga muntu yenna gikaabirako.
Anokoddeyo egimu ku mikolo, Katikkiro wa Buganda gyagenze ayisaamu Kamuswaga olugaayu era nga bamulanga okuba nga ye yaviirako n’okujibwamu kw’Entebe ye mu lukiiko lwe Mengo, ku bigambibwa nti yali tayagala Namulondo bbiri mu kifo kimu. Kiwanuka agamba nti kino Mayiga teyakoma kukikola Mengo, wabula agenze abikola ne mu bifo ebirala, nga 2013 bwe waaliyo omupiira gw’amasaza e Mannya era yalagira entebe ya Kamuswaga ejjibwewo Kabaka bweyali aggulawo emipiira gino.
Kiwanuka, alabudde Mayiga obutaddamu kusalimbira Kooki nga tamaze kukola nteekateeka nambulukufu n’abwakamuswaga naddala ku mirimo egy’enkulakulana nti kuba bateeseteese okumusiba nagamba nti wabula wa ddembe okwetaba ku mikolo ng’okuziika oba embaga egiba gitegekeddwa e Kooki nga munnauganda yenna omulala.
ENDS
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com