BYA Moses Kizito Buule
GAVUMENTI etandise kawefube agendereddwamu okukendeeza ku nkaayana eziri ku ttaka mu Disitulikiti ye Nakaseke.
Mu kawefube ono egenda kuwaayo ebyapa ebiwerera ddala 300eri abatuuze ku byalo 3 okuli Kibubbu, Kirema ne Kitotto ebisangibwa mu Gombolola ye Semuto.
Minisita avunanyizibwa ku bye ttaka Betty Amongi yabikudde ekyama kino mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku Ssengejjero lya mawulire (Media centere) ku lw’okuna.
Amongi agambye nti kino bakikoze okusobola okukendeeza ku mivuyo egy’etobese mu ttaka ensangi zino, nadda mu ma Disitulikiti ga Buganda.
Agambye nti Pulezidenti Museveni yagenda okukola omukolo gw’okukwasa abatuuze ebyapa byabwe mu butongole ku lw’omukaaga, era bafuuke bannanyini ttaka abajjuvu nga teri abatataaganya.
Abatuuze abagenda okuganyulwa mu nteekateeka eno mwe mulu abali ku ttaka eliri ku Block 260 poloti 383nga lipima obunene bwa yiika 41 n’obutundutundu175, eddala eliri ku Block 385 nga lipima yiika 201 n’obutundutundu 6 lyonna nga lisangibwa ku byalo 3.
“E Nakaseke gye tutandikidde, naye bwe tuvaayo tudda mu Disitulikiti ye Kayunga mu gombolola ye Kitimbwa ne Kayonza nayo tugenda kubakwasa ebyapa byabwe aby’abakolerwa mu nkola eyateekebwawo Gavumenti mweyita okugulira abatuuze ettaka kwe bali emanyiddwanga Land Fund.” Amongi bwe yagambye.
Akulira akakiiko k’ebyettaka Baguma Isoke yagambye nti ettaka lino baaligula obuwumbi 2 ne kitundu era nga balina entekateeka y’okugula ettaka eddala mu bitundu eby’enjawulo okulaba nga Gavumenti etebenkeza abantu abali ku bibanja okuwona okugobwa bannanyini ttaka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com