Bya Moses Kizito Buule
OLUKIIKO lwe Ggwanga olukulu lusazeewo Gavumenti eliyirire abatuuze b’okukyalo Lusanja ekisangibwa mu Disitulikiti ye Wakiso, abaayononebwa ebyabwe omugagga Charles Kiconco nga agamba nti baali bazimba ku ttaka lye
Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba (wa Masaka Munisipaali) yaleese ekiteeso mu lutuula lw’eggulo n’alambika ebintu musanvu ebirina okukolebwa era ne biyisibwa Palamenti.
Abatuuze abasukka mu 350 abaamenyerwa amayumba agawera 160 balina okuliyirirwa bunnambiro.
Abantu bonna abaali emabega w’ekikolwa kino bavunaanibwe n’okukakasa nti abatuuze baweebwa eby’okusula, emmere n’ebintu ebirala ebyeyambisibwa mu bulamu obwabulijjo.
Gavumenti era yalagiddwa okutegeeza ababaka w’enaaba etuuse ku ky’okussa mu nkola ebyasaliddwaawo mu lutuula olunaasooka nga Palamenti ezzeemu mu January.
Ebirala ebyalagiddwa Gavumenti mulimu okugoberera amateeka gonna agakwata ku ttaka, okunoonyereza ku nsonga zonna endala ez’ettaka n’okubangula abantu ensonga z’ettaka.
Kyaddiridde Ssaabawolereza wa Gavumenti, Willian Byaruhanga mu lutuula ku Lwokubiri okukkiriza nti ekiragiro ky’okubasengula kyayisibwa mu bukyamu.
Yannyonnyodde nti abaasengulwa balina omusango gwe baaloopa nga bawakanya okusengulwa mu bukyamu era kkooti n’esalawo nti be batuufu.
Ekitongole ekiramuzi yagambye nti kyanoonyereza ku nsonga eno era omulamuzi eyayisa ekiragiro ne yeetonda era nga yasindikibwa mu kakiiko akakwasisa empisa.
Byaruhanga yasuubizza nti ofiisi ye ng’ekolagana ne ofiisi ya Ssaabalamuzi bagenda kukakasa nti, abaasengulwa mu bukyamu bafuna obwenkanya n’okukakasa nti ekikolwa nga kino tekiddamu kubeerawo.
Kyokka okunnyonnyola kwa Byaruhanga kwasaanudde ababaka nti bakooye okwogera awatali bikolwa.
Sipiika Rebecca Kadaga yavudde mu mbeera n’abuuza lwaki wannyondo wa kkooti ayitibwa Kirunda yabadde tavunaanibwa kuba yasengula abantu ekiro ekintu ekimenya amateeka.
Robert Kyagulanyi (Kyaddondo East) yannyonnyodde ababaka okubonaabona abantu b’e Lusanja kwe bayitamu omuli okukubwa enkuba nga waliwo n’abawala abazze bakakibwa omukwano.
Muhammad Nsereko (Kampala Central), Medard Seggona (Busiro East) ne Maurice Kibalya baasabye Gavumenti ezzeewo amayumba ge baamenya n’okubaliyirira ebintu ebirala byonna bye bazze bafiirwa.
Ku mulundi guno baagala n’abaserikale ba poliisi bonna abeenyigira mu kusengula abantu bavunaanibwe ssekinoomu. Katikkiro wa Uganda, Ruhakana Rugunda yagumizza eggwanga nga Gavumenti bw’ezze eyamba abantu bano.
Abantu b’omu Lusanja baasengulwa n’amayumba gaabwe ne gamenyebwa ekiro nga October 12, 2018 ekibinja kya bawannyondo abaali bakuumwa abaserikale bwe baabalumba.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com