Bya Nansamba Shadia, Kalungu
Kooti enkulu e Masaka eragidde District ye Kalungu okuliyirira ba kansala okuli Charles Sserwanja owe Bukulula ne Charles Mutebi okuva e Lukaya ensimbi obukadde butaano buli omu oluvanyuma lw’okujisingisa omusango gw’okugoba bano ku bukiiko, omulamuzi kyagamba nti tebaagoberera mateeka.
Sserwanje ne Mutebi baddukira mu kooti enkulu e Masaka oluvanyuma lwa kanso okubafumuula ku bifo kwebali nga basentebe b’obukiiko okuli ak’ensimbi n’akalondoola emirimo mu District ye Kalungu era nga bino byaliwo nga 18/Oct/ 2017, era ng’ekiteeso ekibagoba kyaleetebwa Sarah Mirembe , ng’ono akiikirira bakadde ku lukiiko lwa District eno.
Omulamuzi Eudes Keitirima mu nsala ye emosomeddwa omuwandiisi wa kooti enkulu e Masaka agamba ssentebe Richard Kyabaggu yalina okugoberera amateeka nga agoba abantu bano era baalina okuweebwa omukisa okwewozaako ekitaakolebwa.
Ayongeddeko nti baleeta ekiteeso ekigoba bano nga tekibadde kw’ebyo ebyalina okutesebwako bwatyo nategeeza nti bakukusa kikukuse tekyayita mu mitendera.
Omulamuzi ategeezeza nti bano baalina okusindikibwa mu bukiiko bw’ebakulira nebanoonyerezebwako oluvanyuma alipoota neretebwa mu kanso kyokka neyewunya engeri abakiise n’omukubiriza w’olukiiko lwa district gyebakukusaamu ekiteeso kino.
Wabula bano olumezze ne District nebawera nti wadde akaseera kano terina nsimbi naye tebasobola kugisonyiwa nti kuba kooti yabawa nakiseera eky’okukaaya wabula abakulembeze nebajigyemera.
Kigambibwa nti embiranye ya Ssentebe Richard Kyabaggu nabakiise abaddukira mu kooti y’ekuusa ku nsonga z’eby’obufuzi era nga n’okulonda okwaddibwamu mu kitundu kino tebamuwagira naye kwekusalawo okubafumuula ku bukiiko obwali bwabaweebwa nga ye ali bbali wa ntebe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com