Bya Moses Kizito Buule
ABABAKA abatuula ku kakiiko ka palimenti akanoonyereza ku mivuyo n’obulyake eby’etobese mu bitongole bya Gavumenti, bavuddeyo ne bagaana ekirowoozo kya Pulezidenti kye yabadde abasabye okubuuliriza kwe baliko ennaku zino okukikola mu kyama, kye bagambye nti tekyetagisa kubanga ensimbi abakungu bano ze bawuwuttanya z’abawi ba musolo abeetaaga okumanya buli ekigenda mu maaso.
Kino kiddiridde Pulezidenti Museveni ku mande okutegeeza abakakiiko kano nti omulimu gwe baliko ogw’okukunya abakungu ba Bbanka enkulu okuzuula butya bwe baggala zi Bbanka 7 mulungi, nti naye enkola yandibadde si ya lukale, okusobola okutambuza omulimu obulungi.
Wabula Ssentebe wa kakiiko kano era omubaka wa Bugweri Abudu Katuntu agamba nti ekiteeso omukulembeze we Ggwanga kye yaleese tebayinza kukigenderako kubanga abantu bano be bakunya baakozesa nsimbi za bannaUganda saako n’okubalemesa emirimu gyabwe, nga kitegeeza nti ensi yandibategedde saako ne nkola zonna ze baakozesa okudibaga ebitongole.
Katuntu yanyonyodde nti Bbanka zino zaalimu abantu bangi abazikolamu saako ne bannanyinizo abafiirwa ebyabwe mu ngeri etaagoberera mateeka, nga tekikola makulu kukwekereza bantu abaakola bikolwa ebyakika nga ekyo.
Yakkatirizza nti tebagenda kukomya kuyita bannamawulire nga bwe babadde bakola, nagamba nti bagenda kugenda mu maaso okukunya mu lwatu abangu bonna mu lujjudde nga ensi yonna ebalaba ne bwe bataabe ba Bbanka enkulu yokka, wabula n’abalala mu bitongole ebiwuwuttanyizza ensimbi.
Mu mabbanka agaggalwa mulimu eya TEEFE nga eno yaggalwa mu mwaka gwa 1993, International Credit Bank mu 1998, Greenland Bank mu 1999, Coperative Bank mu 1999, National Bank of Commerce mu 2012, Global Trust Bank mu 2014 n’esembyeyo eya Crane Bank gy’ebaaguza DFCU ku ntandikwa ya 2017.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com