Bya Moses Kizito Buule
PULEZIDENTI Museveni alabudde bannannyini ttaka abasaba abeebibanja ssente z’obusuulu ezitali mu mateeka nti balina okukikomya, nti kubanga kitadde abantu be abawansi ku bunkenke olw’obutazisobola.
Museveni okwogera bino yasinzidde ku ssomero lya Nakwaya SS mu ggombolola y’e Kikandwa e Mityana gye yasisinkanidde abantu abasoba mu 1,000 abasulirira okusengulwa ku ttaka, nagamba nti Gavumenti yateekawo dda omutemwa gwa busuulu omusenze yenna gw’alina okusasula nnannyini ttaka.
Omuwendo guno baagugereka nga gwayisibwa buli disitulikiti nga musaamusaamu kuba kateekeddwa kubeera kasiimo. Kyokka yeewuunyizza okuwulira nti waliwo bannannyini ttaka abasaba abasenze ssente z’obusuulu ennyingi n’abalabula nti kino tayinza kukigumiikiriza kuba kikyamu.
Abantu abagobaganyizibwa ku ttaka baavudde mu disitulikiti nnya okuli; Mityana, Mubende, Kiboga ne Kyankwanzi. Yabagumizza n’abategeeza nti; “Olaba nawangula olutalo lwa 1986, nnyinza ntya okulemwa olutalo lw’okulwanyisa abagobaganya abalwanyi?!!” Bwe yabadde ayogera ku batuuze be Wabinyira abatudde ku ttaka eriweza yiika 24, yagambye nti okunoonyereza kwe yabadde akoze, yakitegedde nti abakulembeze b’omu kitundu bangi beekobaana n’omugagga Olivia Namawuba eyagula ettaka.
Omulamuzi eyayisa ekiragiro ky’okusengula abantu be Wabinyira yasuubizza bw’agenda okukolagana ne Ssaabalamuzi bakakase nti akangavvulwa kuba yakikola mu bukyamu.
Pulezidenti eyabadde ayogera ng’abantu bamukubira enduulu yalabudde buli muntu alowooza nti ajja kusengula abantu mu bukyamu n’agamba nti beerimbye kuba eby’okusaaga biweddewo. “Njagala mukimanye nti sazze kunyumya bibooziboozi, era wano nazze ne munnamateeka wange Flora Kiconco agenda okubawoleza emisango gyammwe gyonna mu kkooti ku bwereere,” Museveni bwe yagambye abantu ne bamukubira emizira.
Museveni era yasiimye akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire olw’okwanika abantu bonna abazze beenyigira mu kunyaga ettaka n’okugobaganya abalala ku ttaka. Akakiiko ka Bamugemereire yagambye nti kamuyambye nnyo okumanya ebintu by’abadde tamanyi ekimuleetedde okusitukiramu.
Abraham Luwalira ssentebe w’abeebibanja abeegattira mu kibiina kya Mityana Bibanja Holders Association yalombozze ennaku omugagga Namawuba gye yabayisaamu nga baakamulaba mu 2014.
Yategeezezza nti bwe yajja yasooka kubaggulako musango gwa kusaalimbira ku ttaka lye era n’omulamuzi n’asala omusango ng’agusingisa abatuuze abaali bamaze ku ttaka emyaka n’ebisiibo era bangi ne basibwa mu makomera.
Pulezidenti yamulagidde aggulewo ebibiina by’abeebibanja mu disitulikiti ennya ezikosebwa. Pulezidenti okuyingira mu nsonga zino yasooka kusisinkana Luwalira, era nga ye ssentebe wa Wabinyira, mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe gye buvuddeko. Bukedde 6 Lwakusatu December 12, 2018
Bwe yamubuulira ebizibu bye bayitamu, yamusindikira munnamateeka we Kiconco eyasisinkana abatuuze n’oluvannyuma akakiiko k’omulamuzi Bamugemereire ne kasisinkana abatuuze. Pulezidenti yasuubizza okutuuka mu disitulikiti zonna awali ekizibu ky’okugobaganya abantu ku ttaka, kisobole okukomezebwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com