KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga avuddeyo nakangula ku ddoboozi nga agamba nti abantu ab’olubatu mu Ssaza lye Kooki teabajja kumutiisatiisa mbu ave ku ntekateeka z’aliko ezigenderera okukulakulanya abantu b’eKooki.
“Nze Mayiga ndi munnamateeka omutendeke, omuntu gw’atasobola kuva gy’avudde natiisatiisa, kubanga amateeeka ngamanyi bulungi, era gwe mulimu gwange mwe nakuguka, kitegeeza nti buli kye nkola mbeera maze okukyekeneenya era nga mmanyi nti nkikola awatali kukugirwa.
Abammanyi obulungi ndi musajja atayagala nfuufu, naye olaba nva mu offiisi yange elimu ne mpewo ey’obulamu ne nsalawo ngende e Kooki mu nfuufu, kitegeeza nti ngondera mukama wange Kabaka era nga nina okwewaayo okukola emirimu gye mu bwesimbu n’amazima.” Mayiga bwe yategezezza.
Okw’ogera bino yabadde mu lukiiko lwa Buganda oluggalawo omwaka olw’atudde ku bulange e mengo ku mande, nga wano weyasinzidde n’awera nti era agenda kuddayo e Kooki kubanga nayo kye kimu ku bitundu mukamaawe Kabaka bye yamukwasa okumulamulirako.
Kino kiddiridde wiiki ewedde ab’ebyokwerinda bwe bamuyimiriza okumala akabanga e Masaka bwe yali agenda e Kooki, nga bagamba nti baali bafunye amawulire nti waaliwo abantu abaali bawakanya okukyala kwe mu Ssaza lino era nti baali betegefu okulaga obutali bumativu nga beekalakaasa.
Yanyonyodde ababaka b’olukiiko nti e Kooki eriyo akabinja k’abantu abatayagala butebenkevu n’ankulakulana nti naye takatya kuba ekyewunyisa abakakulira babeera Kampala, be yayogeddeko nga abatamanyi bizibu by’abantu ba Kooki.
Yayongeddeko nti agenda kulaba nga entekateeka ye emanyiddwanga Mwaanyi Terimba agenda kujongeramu amaanyi mu Ssaza lye Kooki abalimi baayo nabo basobole okugiganyulwamu.
Yebazizza Poliisi n’ebitongole ebikessi okusobola okunonyereza obulungi era n’ebazuula amazima, nabasaba okwekeneenya ennyo abantu ababawa amawulire beyayogeddeko nga ababa benoonyeza ebyaabwe.
Kooki kyaali kiyundu ekyetwala mu bukulembeze mu myaka gye mabega okutuusa mu mwaka gwa 1886 Kabaka Mwanga bwe baakola endaagano n’eyali Kamuswaga ebiseera ebyo omugenzi Hezekia Ndawula ne bakkiriziganya Kooki okufuuka ekitundu ku Buganda naye nga kyasigaza enkola zaakyo zonna, obulombolombo n’obukulembeze obw’ensikirano.
Naye okuva mu mwaka gwe 2003 nga Kamuswaga aliko kati Appollo Ssansa Kabumbuli amaze okutuuzibwa Mengo ezze esika omuguwa n’obwaKamuswaga nga bagamba nti baagala kwekutula ku Buganda beetwale kubanga Kabumbuli bamutwala nga Kabaka waabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com