Ssebaggala agamba nti bakizudde nti abasomesa abatali mu bufumbo butongole bakemeddwa nnyo ne batuka nokukabasanya abayizi be basomesa, nagamba nti okwewala ebyo buli musomesa alina okutongoza
obufumbo nti kuba kino kibayamba okwewa ekitibwa ne batenyigira mu bivve bwe bityo.
“ Buli musomesa wamu n’omukulu w’essomero ng’ali mu massomero gaffe tumuwadde omwaka gunno gwokka ng’amaze okutereze ensonga z’obufumbo bwe, naye oyo yenna atakikole yenenyanga yekka ekinatuukawo ajja
kukiraba.” Bwatyo Bishop Ssebagala bwategezezza.
yayongeddeko nti bakugenda mu maaso ng’obulabirizi nga bateekateeka embaga zino nti kuba bakizudde nti abasomesa abamu babadde batya okukola embaga nga bekwasa nti tebalina sente okutuusa ekibiina kyo
bulabirizi ekigatta abakulu bamasomero ekya Church of Uganda Head Teachers Association bwe kivuddeyo n’ekitandika okubakwatirako.
“ Okutandiika n’omwaka ogujja tetugenda kukkiriza musomesa yenna alina omukazi oba omusajja nga sibafumbo mu mateeka kusomesa mu massomero gaffe, oli bwanajja nga talina muntu oyo atekeddwa okusigala
bwatyo ng’abwazze okutuusa ng’afunye omuntu mu butongole gw’anawasa nga ayise mu mitendera ate oyo anajja nga simugatte alina kusooka kugattibwa, naye ekitali ekyo tewali mulimu gwonna.” Omulabirizi bwe yakaatirizza ensonga eyo.
Agamba nti tebagenda kukaka basomesa kukyusa ddiini ,nti oli bwaaba musiramu, mu katuliki oba mulokole naye alina okugenda mu muzikiti bamuwowe wamu na b’enzikiriza endala zonna, agamba nti kino ky’akubayamba okubafuula abantu b’obuvunanyizibwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com