Bya Moses Kizito Buule.
OMUVUBUKA George Onyango ow’emyaka 35 nga mutuuze ku kyalo Busoke ekisangibwa mu gombolola ye Mpatta mu Disitulikiti ye Mukono, bw’anyumya engeri eryato elimanyiddwanga MV Tempra gye lyayiwa abantu mu nnyanja ku kyalo Buzindeere ekiri okumpi ne Biiki ya Mutima, tolemwa kukwata ku ttama. Ate era bw’akunyumiza engeri gye bataasamu Omulangira David Kintu Wassajja, Omukungu wa Kabaka Kiyimba Freeman n’abalala tolema kwewuunya ngeri Katonda gy’atasaamu abantu be.
Onyango yawayizzaamu n’omusasi wa The Watchdog Uganda eyamusanze mu kifo kya Mutima Beach wenyini ye ne banne w’ebataasiza abantu saako n’okunyulula emirambo mu akawungeezi akakeesa olw’omukaaga nga 24/11/2018.
Onyango attottola bwati eby’atuukawo, Akawungeezi ako, natambula ne ngendako ku lwaazi oluli okumpi ne nnyanja ku ludda olw’aBiiki ya Mutima, era nali ntadde ebintu ebinsobozesa okuwulira Leediyo mu matu gange wabula ngenda okuzza amaaso nga waliwo amaato 2 agaali gava ku ludda lwe Ggaba nga gadda ku Biiki ezirinanyewo naye nga buli limu liri ku lwalyo, era nga gonna galiko endongo ezisindogoma okukamala, olw’okuba wano ewaffe buli kaseera tuba tulaba abadigize nga batuyitako n’endongo zaabwe, sasooka kufaayo kwetegereza oba gaali gonna gagenze oba nedda.
Wabula kye nekakasa obulungi lino erya Tempra lyali kumpiko ne wennali, era nga oluyimba olw’aliko mu kiseera ekyo n’aluwulira bulungi lwali lugamba nti (Bakwatawa, era Banyiga wa) olwayimbibwa abayimbi Nutty Neithan ne Rhodah .K, nze nayongera kuwuliriza ndongo naye nga situnuddeyo kubanga nali mmanyi nti eryato lya Tempra telisobola kukyama ku Mutima kubanga naye (Tempra) alina biiki eyiye emaanyiddwanga K Palm kye nasubira nti lyali lilina kugenda wuwe.
Ekyewunyisa nawulira munze nga waliwo ekingamba nti tunulira ku lyato eryo kubanga kw’aliko abadigize nga baleekaana nnyo nze nga mmanyi nti ndongo ebakutte omubabiro, naye ngenda okuzza amaaso nga ndaba ababadde badigida eryato libayiye mu mazzi, era nga abalajana nnyo nti mutuyambe tufa.
Amangu ago nange n’awoggana nga mpita banange abaali okumpi mu nkambi yabavubi esangibwa ku kyalo Buzindeere nga mbagamba nti abantu bagudde mu mazzi mwanguwe tubataase, era mu bajja amangu mwalimu omugenzi Owecho, Badru Muhwezi ne patrick Onen nga bonna bavubi.
Buli eyatukanga nga tabuuza kintu kyonna wabula kye baakolanga kwe kweyambula engoye ne bagolomola amaato n’etwolekera ennyanja, wakati mu kugenda abamu ku bawala abaali ku lyato lino twayisinganya nabo nga bagezaako okuwuga okudda ku lukalu kuba tewaali wala, zaali miita nga 100.
Abo olwabalaba twabazaamu maanyi nga tubagamba nti mwe mugende mujja kutuuka, ffe katweyongereyo tutaase abalala.
Twatuuka awali abantu nga bonna baakaaba era nga buli omu alaajana kumutaasa kubanga akaseera kaali kazibu nnyo ate nga n’obudde butandise okukunira, awo ne tutandika okusitula abantu nga tubateeka mu lyato lyaffe era omulundi ogw’asooka twaleeta abantu 8 bonna nga balamu bulungi.
Omulundi ogwaddako twaleeta abantu 7 naye nga 4 balabika bakooye nnyo era olw’abatuusa 3 ne bafiirawo ate omulala ne tufuna Yingini ye lyato eddala banange abalala ne bagezaako okumuddusa mu ddwaliro e Ggaba naye oluvanyuma twafuna amawulire nti teyatuuka yafa nga bamutwala, kitegeeza nti ku mulundi ogw’okubiri ku bantu 7 be twali tutasizza kw’alamako 3 bokka.
Tuba tuddayo munange kwe kumbuuza nti ye owecho aliludda wa? kubanga eryato lye twali tetuliraba mwe baali batasiza abantu ne munaffe amanyiddwanga Brown, wabula ekyatujja enviiri ku mutwe kwe kulaba Brown nga awuga adda ku lukalu nga talina lyato, ne mubuuza ekituuseewo naye kwe kuntegeeza nti eryato mwe babadde ne Owecho abantu baliyikira bangi n’eribadima ate bonna ne bagwayo mu nnyanja.
Wano amaanyi gayagala okutugwaamu kubanga awo twali tukitegedde nti munaffe amaze okufa, naye nga tukyawulira abantu abalajana n’engamba banange nti temugwamu maanyi tugende tuyambe abakyali abalamu, kuba batuyita, awo wetwalabira omusajja nga amaanyi gamuweddemu ne muwereza omuggo ne mugamba wekwate okwo ojje mpola mpola naye kye yakola, era n’etumusitula ne tumussa mu lyato n’abawala abalala 3 abaali okumpi awo ne tubaleeta ku lukalu, nga bagonvu nnyo olw’ensisi eyaliwo nga balaba banaabwe bafu.
Tugenda okutuuka ku lukalu nga bakyala baffe bamaze okukuma omuliro mu kyooto eky’atekebwawo okusobola okuyamba abaali batasiddwa okufuna ku bbugumu, era n’omusajja oyo bwe twamutuusa ku lukalu ne tumutwala ku kyooto ekyo.
Yalabika nga mukoowu nnyo era nga asirise nnyo, kwe kumubuuza nti “Musajja oli bulungi” teyanziramu kintu kyonna wabula nze n’emugumya nti ojja kuba bulungi. Awo bwe naddayo wansi ku nnyanja gye nasanga abawala 2 ne bambuuza oba Omulangira naye awonye, kwe kubaddamu nti Mulangira ki? ko bbo nti muto wa Kabaka, nabategeeza nti waliwo abaami be tututte ku muliro waggulu, era ne mbawerekerako nabo kwe kumunsongerako nti wuuyo mulamu nga basanyufu.
Awo wetwalabira n’omuntu omulala nga abuuza mukamaawe oba awonye, ono bwe twamubuuza mukamaawe gwagamba yaani? twakizuula nti yali Mwami Kiyimba Freeman nga abaauza Omulangira Wassajja.” bwatyo Onyango bwe yalombozze ebyatuukawo.
Yategezezza nti abajaasi abalwanyisa envuba embi nabo bayamba kinene kubanga bbo baalina amafuta agamala nti era bayamba nnyo mu kunyulula emirambo ekiro ekyo saako n’okuleeta tooki ezaaka ennyo ezabasobozesa okulaba mu nzikiza.
Agamba nti waliwo omusajja eyajja ne motooka okuyita mu bitundu bye Ntenjeru ku lukalu nga eyaka nnyo, nti era yagivuga katono esibire mu mazzi nti nooyo yayamba nnyo kubanga yajja n’ebitaala ne ngoye z’ebakozesa okubikkirira ku bantu abaali bawulira obunyogovu oluvanyuma lw’okusimattuka akabenje, ono naye yategerekeka nga yali Omugagga Desh Kananura owa Panamera events nti era ono yeyakubira abamagye ne Poliisi amasimu ne balyoka bajja okutakiriza embeera.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com