Bya Moses Kizito Buule
SSABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asasidde abafiiriddwaako abantu baabwe mu njega eyagudde ku nnyanja Nalubaale nagamba nti okwewummuza n’okusanyuka si kibi wabula wateekeddwa okubaawo obwegendereza bulijjo eri abadigize.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa Omuwandiisi we ow’ekyama, Peter Mpanga, olunaku lw’eggulo, Kabaka yagambye nti abantu okutomokera mu nnyanja osanga tekyandibaddewo singa eryato mwebaali basaabalira ly’amala kweekenenyezebwa okukakasa nti liri mu mbeera nnungi.
“Ebitongole bya gavumenti ebikwatibwako ku ntambula z’oku mazzi biteekeddwa buli kiseera okulawuna ennyanja,okukebera ebiddyeeri, amaato n’obwaato obutono ebisabaza abantu tusobole okwewala obubenje ddekabusa nga kano akatuseewo.
Buli ssekinomu atambulira ku mazzi asaanidde okwambala obukooti obuseyeya akaziyiza omusaabaze okubbira mu mazzi,” Kabaka bweyategezezza.
Era yalabudde Bannayuganda bonna okwewala ebitamiiza ebisusse oluusi n’enjaga bye bafuweeta kubanga bino byombi biremesa omuntu okusalawo amangu ekyokukola singa akabaate kaggwaawo.
“Ebyo nga biri bityo tetulema kwebaza Katonda eyawonyezza abamu kwaabo abaabadde beesanyusaamu. Buli akwatibwako mu ngeri emu oba endala, olw’okufiirwa omwana we, mugandawe oba mukwano gwe twongere okumusabira era n’okusaba Katonda abagumye mu kiseera kino eky’obuyinike era n’emyoyo gy’abagenzi agiramuze kisa,” Kabaka Mutebi II bweyayongedde okwogera ku njega eno.
Okufa kw’abantu bano, empologoma eyasangiddwa e Bungereza, kwagikubye ennyike era netegeza nti okusinzira ku bifananyi byeyetegereza ku mitimbagano egitali gimu n’emikutu gy’amawulire, kyeyoleka nti babadde bakyali mu myaka mito, Buganda ne Uganda bebadde erina essuubi ly’obukulembeze obw’enkya n’emirimu gy’ensi nga bandibadde bagikola mu biseera eby’omumaaso.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com