EBYA Omuyima w’ekiwayi kya Boda Boda 2010 Abdallah Kitatta bikyali bibi, oluvanyuma lw’oludda oluwaabi mu misango gy’avunanibwa mu kkooti y’amaggye egy’ekuusa ku kusangibwa n’ebikozesebwa bya maggye mu bukyamu, ate okuwandiikira Ssentebe wa Kkooti Lt.Gen Andrew Gutti nga bamusaba agaane okusaba kw’okweyimirira kwe yali asabye.
Kinajjukirwa nti ba Puliida ba Kitatta baali bazeemu okusaba kkooti omulundi ogw’okubiri, nga baagala omuntu waabwe awoze nga ava bweru.
Oludda oluwaabi nga lukulemberwa Capt, Samuel Masereje olw’aleero lutaddeyo okusaba kwabwe nga bagamba nti nga bwe kyali luli. basaba nti bwe kilina okuba kubanga Kitatta yalemwa okubamatiza nti yali mulwadde muyi eyali tasobola kujjanjabirwa mu ddwaliro ly’amaggye e Makindye.
Masereje ategezezza nti nga bwe bategeeza omulamuzi ku mulundi guli nti Kitatta yali w’akufuuka omuziziko mu kunonyereza kubanga muntu wamaanyi nnyo mu ggwanga kuba ye Ssentebe w’ekibiina ekiri mu buyinza mu adaivision ye Lubaga mu Kampala.
Olwaleero omujaasi we kitongole ekikessi Major David Agaba nga ono yabadde omujulizi ow’okusatu era nga yeyadduumira ekikwekweto mwe bayoolera Kitatta, amalirizza okuwaayo obujulizi bwe mwategerezza nti ddala kituufu bwe baali bakwata Kitatta bamusanga n’ebissi omwali ne Mmundu ekika kya pisitol eyali eya zaabu.
Wabula Ssentebe Gutti awadde nti nga 6/12/2018 lwagenda okwetegereza oba Kitatta ateebwa oba nedda.
Kitatta yakwatibwa ku ntandkwa y’omwaka guno wamu ne banne 12 abali e Luzira nga ye akuumirwa mu nkambi ya maggye e Makindye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com