Bya Moses Kizito Buule
MINISITA omubeezi ow’ebyenjigiriza mu bw’aKabaka bwa Buganda Dr.
Prosperus Nakindu Kavuma avuddeyo n’asaba abakyala okw’ewala okwetaba wamu n’okuleeta obutabaguko mu maka gaabwe, kyagambye nti kino kye kimu ku bivaako okubonabona kwa baana ne bamaliriza nga bagenze ku kasasiro.
Nankindu agamba nti omuwendo gw’abaana abayayuuka n’abali ku kasasiro ogw’eyogedde obungi ennaku zino guva kukuba nti abakyala tebavaayo kutangira, saako n’okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe mu maka.
Bino abyogeredde kumukolo gw’okukuza lunaku lw’aBakyala olw’obw’aKabaka bwa Buganda olwa buli mwaka olw’abadde ku Summer Garden’s e Mukono ku lw’okubiri n’omulmwa “ Ekitiibwa ky’Abakyala mu ggwanga y’enkulakulana” nga gwe tambiddwako abakyala okuva mu maSsaza gonna agali mu Buganda.
Ono abakyala abasabye okwetanira ennyo okwekebeza ebirwadde ebyenjawulo omuli Kansa basobole okubeera ng’abalamu ,saako n’okubeera nga abasanyufu bulikadde okwewala okukaddiwa.
“Ffe Abakyala tulina okulabika obulungi buli kadde, era nga mukyo akaseko tekatuggwa ku matama eyo yeemu ku nsonga lwaki tusala n’emyaka nga obukadde tubugobye.” Nankindu bwe yagambye.
Abamu kubakulembeze babakyala baawadde bakyala banaabwe amagezi okubeera abakozi ennyo okwewala okusabiriza abaami mu buli kimu, okukuuma saako n’okukuliza
abaana mu mpisa.
Omwami wa Kabaka atwala eSsaza lye kyaggwe Alex Kigongo yalaze obutali bumativu eri Abaami abasuliridde ennyo obuvunanyizibwa bwabwe mu maka n’agamba nti kati abaana tebakyamanyi bakitaabwe olwokuba ba Maama be bafuuka abasajja kati mu maka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com