Bya Moses Kizito Buule
ABATUUZE ab’ayononerwa amayumba gaagwe n’ebintu ebirala ku kyalo Lusanja ekisangibwa mu Town Coucil ye Kasangati mu Wakiso batabuse ne basalawo okulumba omukubiriza w’olukiiko lwe ggwanga olukulu Rebecca Kadaga abeeko kyakolawo, nga bagamba nti bakooye okusula wabweru, ngaate Gavumenti yali yasuubiza okubayamba.
Bano ababadde basoba mu 200 bategezezza nti ekibajje mu mbeera kwe kulaba nga ekiseera ky’eyongerayo kyokka nga tewali kikolebwa okuva omugagga Medard Kiconco bwe yasenda amayumba gaabwe nga ayambibwako poliisi nga 12 omwezi gwe kkumi.
Bagamba nti mu kiseera kino basula wabweru abamu mu zi weema ze bayegekereza mu kifo ekyo, kyokka nga buli olukya omugagga Kiconco ab’ewerera okubagobawo singa tebamuviira mu mirembe.
Kigambibwa nti ettaka lino Kiconco yaligula kuva ku Namasole wa Buganda Bagalayaze, kyokka nga ono yali yagenda mu maaso naawa abatuuze liizi ku ttaka lye limu, oluvanyuma ne yefuula nalitunda nga abatuuze tebategedde.
Bano baali basuubirwa okuliyirirwa kyokka kigambibwa nti Kiconco yagaana mu bugenderevu nasalawo okubasenda nga tebalina yadde omunwe gwe nnusu gwe bafunye.
Oluvanyuma lw’okubasenda bannabyabufuzi bangi omwali n’omukulembeze we ggwanga baendayo okubasasira era n’asuubiza okubaako kyakolawo kyokka n’okutuusa kati teri kyali kigenze mu maaso.
Olwaleero kwe kusalawo okutambula bagende ku Palimenti beekubire enduulu eri omukubiriza w’olukiiko lwe gwanga olukulu balabe oba banayambibwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com