Bya Moses Kizito Buule
EYALIKO omumyuka wa Meeya wa Kampala Sarah Nkonge Muwonge amaliridde okudda mu lw’okaano avuganye ku kifo ky’omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Lwengo mu Palimenti yadde nga yagwa mu kulonda okwaliwo mu 2016.
Nkonge omusuubuzi omututumufu mu kibuga kye Kampala Jinja ne Masaka, era nga munnaby’anjigiriza ow’amaanyi kuba alina amassomero agawerako omuli ne ly’aKampampala Secondary School ge batandika ne bba kati omugenzi Francis Muwonge.
Ono era yaliko omumyuka wa Meeya wa Kampala Al-Hajji Nasser Ntege Ssebaggala, era mu mwaka gwa 1998 yafuuka Meeya omujjuvu oluvanyuma lwa mukamaawe Ssebaggala okukwatibwa n’asibwa mu Ggwanga lya America.
Mu kiseera ekyo yali wa Democratic Party era yali wa maanyi nnyo mu Kampala era nga yawagira nnyo Col. Dr. Kiiza Besigye bwe yali yesimbyewo mu mwaka gwa 20o1 ku kifo ky’obwa Pulezidenti, wano kinajjukirwa nti bannaKampala mu kiseera ekyo bamutuuma erinnya lya NANYONDO elyali ly’olekaobuganzi bwe yalina ewa Besigye olw’okuba mu kiseera ekyo naye yali yeyita SENYONDO olw’akabonero ke nnyondo ke yali akozesa.
Oluvanyuma yegatta ku NRM era mu mwaka gwa 2016 yaddayo e Lwengo n’avuganya ku kifo ky’omubaka akiikirira Abakyala mu Palimenti mu kamyufu ke kibiina nawangulwa Cissy Namujju kyokka era n’akomawo ku bwa namunigina era n’awangulwa mu kalulu ak’abonna.
Yadde nga yagwa mukulonda okwo teyassa mukono yasigalayo mu bantu be Lwengo era nga ennaku zino asiiba alambula balonzi mu kitundu kino saako n’okusisinkana abakyala mu bibiina eby’enjawulo nga kwatadde n’okubassaamu kko ku kasente b’ekulakulanye.
Ku mikolo egisinga mu magombolola omuli eye Kyazanga Rural, ne Kyazanga Town council gy’abadde ayita awulirwa nga akalulu akasaba kyere era nga awera nga bwagenda okudda avuganye munnaNRM Cissy Namujju aliyo kati.
Abantu b’eLwengo abamu bamusuuta akomewo nga bagamba nti omubaka waabwe Namujju yabalyamu olukwe bwe yakkiriza okukyusa semateeka ne kigendererwa oky’okujja ekkomo ku myaka gy’omukulembeze we Ggwanga.
Nkonge agamba nti ku luli Namujju yamuwangulira watono, era nga kati bwamuddira asobola okumuyitako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com