Bya Moses Kizito Buule
MUNNAMAWULIRE w’omukutu gwa The WatchDog Uganda Stephen Kalema akiguddeko, abakulira ekifo kye Ggwanga we balagira emizannyo ne nnyimba ekimanyiddwanga National Theater bwe balagidde akwatibwe nga entabwe eva ku kuba nti yabadde yabadde alina amawulire gajja ku eyali akulira oludda oluvuganya mu Palimenti Winnifred Kiiza mu luggya lwabwe.
Bino byabaddewo ku lw’okuna kumakya Kalema bwe yabadde nga yakamala okujja eddoboozi ku Hon Winnifred Kiiza, Wano abaselikale abakuuma ku miryango gya National Theatre olw’alabirizza nga Omubaka Kiiza agenze ne bataayiza Kalema era ne bamukwata olwo ne batandika okumubuuza kiki kyabadde akola n’omubaka, era ne bamukwata okukakkana nga bamusibidde mu kadukulu kaabwe akali mu kifo ekyo.
“Bwe nabadde ndiko bye mbuuza Omubaka Kiiza natandise okulaba nga abaselikale beekuba obwama era nga bagenda mu maaso n’okunsongamu ne ntya, naye tekyandobedde kugenda mu maaso n’omulimu gwange, wabula olw’amaze ne bangaana okuluma ekifo ekyo,era ne bandagira okusangula ebifananyi bye nabadde nkutte” Kalema bwe yategezezza.
Oluvanyuma omuselikale atategerekese mannya yamubuzizza lwaki yabadde ajja amawulire ku muntu ali ku ludda oluvuganya Gavumenti ate nga akikolera mu luggya lwe kizimbe kya Gavumenti, era namugamba nti yabadde ayinza okuvaako okumufiiriza omulimu gwe.
Akulira okusunsula amawulire ku mukutu gw’amawulire ogwa The WatchDog Uganda Ceaser Abangira yagambye nti baafunye okwemulugunya kwa Kalema, era bagenda kulaba nga batuukirira abakulira ekifo kya National Theatre bababuuze ekyakwasizza Munnamawulire waabwe ate nga ekifo mwe yabadde akolera emirimu kya lukale.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com