Bya Moses Kizito Buule.
EMIRAMBO gy’abayizi 9 abafiira mu muliro ogw’akwata ekisulo ky’abayizi ku ssomero lya St. Benard’s Mannya ss e Rakai mu kiro eky’akeesa ku ssande abakugu bazudde abadde baabwe era ne gibakwasibwa mu miranga.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu Kampala Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza Rose Mary Senninde agambye nti abasawo bakoze okugezesa ku ndagabutonde za bazadde wamu n’abayizi abaafa, ne basobola okuzuula buli muzadde omutuufu, era bonna kati bamaze okubakwasa ebisigalira bya baana baabwe okubitwala gye bagenda okuziikibwa.
Agambye nti 2 ku bo bagenda kutwalibwa mu Disitulikiti ye Isingiro, abalala mu Nakaseke, ate abandi mu Disitulikiti ye Rakai.
Kino kidiridde okwemulugunya okubaddewo mu bazadde abafiirwa abaana baabwe nga abagamba nti Gavumenti eluddewo okubawa emirambo gyabwe, nga babadde tebakyasobola kuwanirira saako n’okuriisa abantu ab’eyiwa mu maka gaabwe okubakungubagirako.
Wabula abasawo babategezezza nti kibadde kizibu nnyo okuzuula abantu abatuufu kubanga abaana baali bayokebwa nnyo era nga tebategerekeka.
Wabula Minisita Senninde asasidde abazadde era nabategeeza nti Gavumenti ebaddukiriddeyo n’amabugo ga bukadde 5 buli maka nga kwe kuli ne ntabula.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com