Bya Moses Kizito Buule
BANNAKAMPALA ennaku zino batambulira ku bunkenke, oluvanyuma lwa maggye okuyiibwa ku nguudo ez’enjawulo mu kibuga wakati, nga kwotadde n’ebitundu ebirinanyewo omuli Mukono ne Wakiso.
Ennaku zino buli wotunula mu kibuga wakati waliwo amaggye, ate nga ne mu bitundu omuli kasangati, Entebbe, Mukono Kireka, bweyogerere na ku buli nkulungo zonna emabbali we kibuga wonna waliwo abajaasi.
Kino kitadde bannakampala ku bunkenke era ky’atanudde n’omubaka wa Munispaari ye Kira Semujju Ibrahim okukyogerako nga yebuuza oba waliwo embeera ey’obunkenke eyinza okubalukawo.
Semujju agamba nti abantu bonna mu Kampala ne miliraano bali ku bunkenke kubanga buli bwe bakeera ku makya balaba abajaasi ababagalidde emigemera wala nga betala mu bitundu byabwe, songa bino bateranga kubilaba nga waliwo okw’ekalakaasa ekitaliiwo, kyagamba nti kati abamu tebasooka na kuggulawo madduuka gaabwe nga batya ebiyinza okuddirira.
“Amaggye amangi bwe gatyo twasemba kugalaba ku mulembe gwa Idi Amin amaggye g’abaTanzania bwe gaali gamaliridde okumumamula mu buyinza, naye ennaku zino kino kibadde tekirabikangako, era tugezezaako okunonyereza eyandiba ensonga naye abantu batugamba tebalina buzibu era tebagetaaga.” Semujju bwe yagambye.
Wabula omwogezi wa maggye ge Ggwanga Brig. Richard Kalemire amwanukudde n’ategeeza nga bwe batayinza kutambulira ku mboozi z’abyabufuzi kubanga amaggye galina okukola omulimu gwaago ogw’okukuuma abantu ne bintu byabwe buli kadde.
“Amaggye galina okuyingira mu buli nsonga yonna nga gayambako ku poliisi okumalawo obumenyi bwa mateeka mu bitundu, era gajja kugenda mu maaso nga gakola omulimu gwaago nga bulijjo abantu temulina kutya.” Kalemire bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com