Bya Nansamba Shadia
KOOTI e Masaka egguddewo olutuula olw’enkizo mwegenda okuwulira emisango egyekuusa ku butabanguko maka.
Omulamuzi wa kooti enkulu e Masaka Dr Winfred Nabisinde yagguddewo olutuula luno nasaba poliisi okubakwasizaako okulaba nga bamalawo emisango nga gino.
Dr Nabisinde ategeezeza nti ku misango 50, egigenda okuwulirwa, 47 ku jjo, gyaddizibwa ku baana okuva ku myezi okutuuka ku myaka 18 kyagambye nti ssinga embeera eno yeyongera, yakuteeka obulamu bwabaana bano mu matigga.
Ono agamba nti okuwulira emisango gino kwakutwala ebbanga lya nnaku 45 era bwatyo nasaba ebitongole ebikwatibwako okukolaggana ne kooti okulaba nga batuusa obwenkanya ku bantu.
Wabula asabye Gavumenti okwongera ku muwendo gw’abalamuzi okusobola ekinayamba okukendeeza ku kukandaaliriza kw’emisango nga bwekiri kati.
Ye akulira ekkomero ekkulu e Masaka SP Deogracious Ogwepit, anyonyodde omujjuzo gwebalina nagamba nti ekkomero lyazimbibwa nga lyakusuza abasibe 250 kyokka nga kati balina 765 nga ku bano 300 bali ku misango gyakusobya ku baana ate 100 gyakukaka bakazi mukwano nategeeza nti enteekateeka eno yakuyamba okukendeeza ku mujjuzo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com