Bya Nansamba Shadia
ABANTU abatanaba kutegeerekeka baalumbye essomero lya siniya erya St. Bernard Manya e Rakai n’ebookya ekisulo ky’abayizi ba siniya ey’okusatu era mwenda baafudde ne bafuuka bisiriiza ate bannabwe
abawerako ne baddusibwa mu malwaliro ag’enjawulo nga basimattuse n’ebisago eby’amaanyi.
Rashid Bbosa myaka 17 asangiddwa mu Ddwaliro e Kitovu ategeezeza nti, zaabadde saawa nga mukaaga mu kiro eky’akeseeza olw’amande, yagenze okuwulira amafuta agawunya wabula bwe yagezezaako okuzuukusa mikwano gye, omuntu eyabadde ku dirisa eriri okumpi ne wasula yakasuse akacupa era amafuta n’egamuyiikira amagulu, kyokka
wayiseewo akaseera katono n’amukasukira akabiriiti omuliro ne gutandika okumwokya ebigere.
Abayizi munaana abaatwaliddwa mu Ddwaliro e Kitovu mu Masaka, omu ku bbo Brian Ssendyowa eyakoseddwa eby’ekitalo yajjiddwayo n’ayongezebwayo e Mulago ng’embeera ye yeraliikiriza.
Dr Alfred Lumala, Akulira eddwaliro lye Kitovu agamba nti Ssendyowa, yafunye ebisago naddala ku bitundu bye eby’omunda era ng’okuwona kyandiba ekizibu wabula nalaga esuubi nti banne omusanvu bajja
kutereera.
Abayizi abasinze okukosebwa ba siniya eyokusatu nga bano kuliko Henry Ssebukeera, Ben Nuwamanya, Rashidi Bbosa, Isaac Ssenkima,Frank Kamanda, Jerome Omeru, Godfrey Arinaitwe ne Brian
Ssendyowa.
Mu kiseera kino essomero lino liggaddwa abatwala eby’okwerinda nga bakulembeddwa Gen Elly Tumwine, n’akulira okunonyereza mu kitongole kya ISO Col. Kaka Bagyenda, era abazadde balagiddwa okunona abaana babwe bonna.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com