Bya Moses Kizito Buule
MINISITA we byenjigiriza ne mizanyo Janet Kataha Museveni asabye Paliment okuvaayo okubaga etteeka elibonereza abakulu ba massomero abefunyiridde okulya ensimbi za bayizi eze bigezo, nagamba nti singa kino tekikolebwa abayizi bangi na bazadde bagenda kwongera okubonaboona.
Museveni agamba nti mu kiseera kino tewali tteeka lilambikiddwa butereevu lye bayinza okuyitamu okubonereza abakulu ba masomero ababa babulankanyizza ensimbi za bayizi ezokukola ebigezo, kyayogeddeko nga ekyobulabe kubanga abazirya bakikola nga bamanyidde ddala nti tewali musango gwa kubavunana.
Yabadde ku lwokuna ayanukula Omubaka Godfrey Waluswaka eyabadde asabye Minisitule ye byenjigiriza ebeeko kyekola okulaba nga abayizi 36 abatatuula bigezo basalirwa amagezi basobole okuweebwa ebigezo babikole, nga ono yatuuse nokusaba babaka banne basonde ensimbi basobole okuyamaba abaana nabazadde abali mu maziga kati olwobutatuula bigezo ebyakamalilizo ebye kyomusanvu.
Minisita Janet Museveni yanyonyodde nti mu kiseera kino tewali bbo nga abakulira ebyenjigiriza mu ggwanga kye bayinza kukola kubanga etteeka teliriiwo mwe bayinza okuyita okuwa abayizi ababa batatudde na banaabwe bigezo, ate era nga mungeri yeemu tewali na teeka libonereza balidde nsimbi.
Tusaba Babaka banaffe banguwe mangu tubage etteeka elizingiramu bino byonna tulabe bwe tuyinza okuyamba abayizi saako nokubonereza ababulankanya ensimbi zaabwe,
Ekilala si kugamba nti tetufaayo naye Uganda etambulira ku mateeka nga tetuyinza ffe kwetumikiriiza ne tusalawo nga omukono ogweggwanga ogwamateeka tegusazeewo, obwo kati buvunanyizibwa bwaffe ffena. Museveni bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com