Moses Kizito Buule
OMUYIMA we kibiina kya BodaBoda 2010 Abudul Kitatta ayolekedde okukubwa mu mbuga avunanibwe emisango emilala egy’ekuusa ku bufere obw’akolebwa ye n’ebanne mu kaseera nga bakyakwazza emirimu gya Boda mu kibuga Kampala n’okwetoloola ebitundu bye’ggwanga ebitali bimu.
Ekyama kino kibotoddwa akulira ekitongole ekikessi mu maggye mu massekkati ge Ggwanga Edris Ssempa bwabadde asisinkannye abagoba ba bodaboda mu Mukono ku wooteeri ya Grand Praclos Gardens okusala entotto ku ngeri abagoba ba zi bodaboda gy’eyinza okwekulakulannyamu wamu n’okumalawo obumennyi bwamateeka obw’esigamye ku mulimu gwabwe
Agambye nti abakulu abaali bakulemberwa Kitatta baliko munnaNsi we’ggwanga lya Buyindi(amannya gasirikiddwa) gw’ebajjako pikipiki ekika kya Bajaj eziwera omutwalo mulamba (10,000) nebatamusasula era nga Kitatta eyali abakulira ng’ebuula ebbang lyamwezi gumu akwatibwe yamujako endala ebikuumi biina (400) wabula nga mpaawo wadde n’enuusu eyamuwebwa, nga kino ky’amuwaliriza okumutukirira mu mwezi gw’okutaano omwaka guno alabe oba ayinza okuyambibwa kubanga bizinensi ye yonna yaggwawo.
Nga kati yawereddwa amagezi atwale Kitatta ne banne aba 2010 mu mbuga z’amateeka ze ziba zilamula, emisango egyo nagyo gy’ongerwe ku mingi egimuvunanibwa.
Wano Sempa weyasinzidde n’asaba abakulembeze ba Boda Boda mu Mukono okukulembeza nga amaziima nga bakola omulimu gwabwe olwo lw’ebanasoboola okw’ekulakulanya nga bayita mu bibiina byabwe eby’obwegassi.
Kunsonga y’okubeera obumu Sempa yabasabye okuviira ddala wansi nga batondawo obukulembeze, kuba kibeera kyabulabe nnyo okuva e Kampala ate n’atandiika okubekakatikako nti naye bo bwe bakikola kino kijja kwogera okutwala omuli mugwabwe mu maaso.
Kunsonga ye by’okwerinda Sempa yagambye nti ebitongole ebikessi bikyagenda mu maaso n’okukissa ku bagoba ba boda boda okubeera emabega w’okutemula banaUganda okugenda mu maaso ensangi zino nga abatemu bakozesa pikipiki okudduka ng’abamaze okubeerako webakola ettemu.
Ono agambye nti okunonyereza kwe bakoze kulaga nti abakulu bano omuntu bwajja gyebali nga lina ssente ezisasula ekifo wagenda okukolera batunulira ssente wadde nga tebamannyi bimukwatako ate ng’oluusi abantu abantu abamu tebabeera balungi eri eggwanga era nabasaba okwetereza bunnambiro.
Wabula nabagooba ba zi Boda Boda abakulembeddwamu ssentebe wabwe mu kitundu kya Mukono James Kakumba bagambye nti kituufu ng’abantu balina obunafu naye n’ebitongole bye by’okwerinda bigayaavu nga bonna balina okw’ekebera okutereza eggwanga.
Bano bakukulumidde ekyokubabuusa amaaso nga bagamba nti nabo babatta kubanga bafiirwa abantu 14 buli wiiki wabula tebatwalibwa nga kikulu ngo’mulaka aba Poliisi baguusa ku bantu balala.
Bano bawereddwa obukadde bwa Uganda butano (5,000,000) bongere okweddabuluula n’okutwala omulimu gwabwe mu maaso
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com