Bya Moses Kizito Buule
ABASUBUZI mu Kabuga ke Namawojjolo akasangibwa mu Gombolola ye Nama e Mukono bavudde mu mbeera ne batisatiisa okulekerawo okuwa omusolo singa abakulira e Gombolola ye Nama tebavaayo kukola ku nsonga zaabwe, omuli okubalongoozeza we bakolera saako ne Town yonna okutwalira awamu.
Bano bagamba nti buli lunaku basasula ensimbi ezitakka wansi wa 2000/=nga baziwa abawooza abawerezebwa ab’eGombolola naye teri buyambi bwe bafuna kuvaayo okw’andibaddenga okubaddizaako ku mutemwa gwe basasula nabo zibayambe mu bizibu ebibakoseza awamu.
Abamu ku basubuzi bano batunda nnyama ya nkoko enjokye, Gonja, amatooke, ennyama ye Nte ne bilala, nga abo be bakolera mu katale akali ku kkubo, wabula waliwo n’abalina amadduuka nga bonna bakaaba ekizibu kimu.
Bategezezza emyaka egiwera nga ab’eGombolola tebabafaako yadde okujjako okubasoloozaamu omusolo ensimbi zonna ne bazitwala nga ate tebalina kye bazza wansi.
Ye Ssentebe we Gombolola eno Erisa Ssebaale bwatukiriddwa ku nsonga eno agambye nti obuzibu buva ku ba Kkansala baabwe ababakikirira olw’obutavaayo kunyonyola bantu baabwe engeri ensimbi gye zitemwa temwamu nti kubanga ensimbi ebitundu 25 ku 100 bafuba okuzizaayo buli mwaka kyokka abakulembeze abawansi tebazanjulira batuuze.
“Ffe emirimu gyonna tugikola nga bwe gilina okukolebwa era gye buvuddeko twagaba obukadde 3 eri abookya enkoko n’abatunda sooda kati nsimbi ki ate z’ebagamba nti tezidda?” Ssebaale bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com