Bya Moses Kizito Buule
OMUBAKA w’eBizinga bye Buvuma Robert Migadde Ndugwa anenyezza ababaka mu Palimenti abatandise okukukkuluma olw’obutafuna nsimbi obukadde 120 ez’abasubizibwa Pulezidenti Museveni bwe yali abaperereza okuyisaamu ekiteeso ekijja ekkomo ku myaka gy’obukulembeze bwe Ggwanga.
Ku lw’okuna Ababaka abatayagadde kwasanguzibwa mannya bakubye bannamawulire akaama nga Pulezidenti bwe yabayisa ku litalaba n’agaana okubawa ensimbi obukadde 120 ze yabasubiza bwe yali abaperereza okumuggira ekkomo ku myaka 75 gye yali alina okuwummulirako obukulembeze nga semateeka bwe yali alambika.
Bano bagamba nti mu kiseera ekyo Pulezidenti yabayitanga era n’abategeeza nga bwe yali ajja okubalabamu ak’enjawulo, omwali okubawaayo ensimbi ez’egasa beetereze nga kwotadde n’okubalwanirako nabo beyongeze emyaka 2 ku kisanja eky’emyaka 5 gye baali baalayira.
Bano Omubaka Migadde y’abanukudde n’abategeeza nti bbo benyini bakkiriza okutunda abantu baabwe ababalonda ne basalawo okwekkirirannya ne Pulezidenti omuntu omu, era n’ebakkiriza abategerere, n’abalagula nti Pulezidenti yabayita ku litalaba era tajja kubawa yadde omunwe gwe nnusu ate nga ne kisanja ky’abayita dda mu myagaanya gye ngalo.
“Banaffe abo tubasasidde kubanga ne mu bitundu gye bakikirira abantu babali bubi era nga bangi kubo bayinza obutadda mu lukiiko lwa Ggwanga, naye nga ffe twabalabula mu ntandikwa nti tebakkiriza kugulibwa bbo ne basalawo okugenda n’omuwawa nga babasubizza sente kati ate batukabirira” Migadde bwe yategezezza.
Yayongeddeko nti teri nsimbi zisobola kugula kutegeera kwa muntu yenna, okujjako nga mwetegefu okufuuka ekisekererwa mu Nsi, naawa Ababaka banne aba NRM ababanja Pulezidenti nti babiveeko ogwo omuzannyo gwaggwa dda.
Ye amyuka Nnampala w’ekibiina kya NRM mu Palimenti Hon. Solomon Silwany bwe yatukiriddwa yesammudde ebigambibwa nti Ssentebe w’ekibiina era Pulezidenti nga bwe yaliko ensimbi ze yasuubiza Ababaka n’agamba nti ababy’ogera benyini bebamanyi gye babiggya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com