Bya Moses Kizito Buule
OBUTAKKAANYA wakati wa Minisita we by’obulimi era nga ye Mubaka wa Kalungu East Vicent Bamulangaki Ssempijja wamu ne munne owa Kalungu West Joseph Gonzaga Sewungu bweyongedde, oluvanyuma lw’abombiriri okutandiga okwewereza ebigambo ebisongovu buli lwe bafuna akakisa okw’ogerako eri abantu be Kalungu.
Bino byatandise okweyoleka ku lw’okusatu Minisita Ssempijja bwe yabadde ku mukolo ogw’ategekeddwa abakyala be Lukaya ogw’okwekulakulanya kwe yasinzidde n’alangira munne Sewungu okuba nga buli kaseera abeera alwanyisa enkulakulana eletebwa Gavumenti saako n’okusiga obukyayi mu bantu b’eKalungu bakyawe Pulezidenti Museveni, kyeyagambye nti tekigenda kumuyamba nakatono wadde ebigambo by’akozesa okukyusa embeera ya bannaKalungu.
“Musajja wammwe oyo buli kiseera abeera agamba nti mwamulonda kuteera pulezidenti kaka, naye akaka bw’akata ani ani afunamu oba bw’avuma NRM mwe mulina kye mufuna? kale nze sewungu mwewunya mu kifo ky’okulaba nga tukwatagana tusakire abantu baffe ebintu ebinabajja mu bwavu omuli okubafunira emwaanyi mulime saako n’okulunda ente n’embizzi mufune sente adda mukuvumirira bye tukoze”.Ssempijja bwe yategezezza.
Ye Munne Sewungu mu kwerwanako yagambye nti abantu be Kalungu buli mulundi bamulonda nga bamanyi nti wa ludda luvuganya Gavumenti era nagamba nti ye omulimu gwe omukulu kuginyigiriza ebeeko ky’ekolera abantu, kale nga Minisita Sempijja bwaba tamanyi mulimu gwe eby’okumwogerako abimme amazzi.
Yagambye nti singa Gavumenti ya NRM ekola nnyo nga Minisita Ssempijja bwagamba, yandibadde yamaliriza dda zi ddaamu Ssekabaka Muteesa ze yasima e Lwabenge mu gye 60? ze yagambye nti zino buli kiseera abantu be Lwabenge bazimujjukiza wamu ne Pulezidenti buli lwe bagendayo okusaba obululu, naye n’okutuusa kati tezikolwangako.
“Oyo Ssempijja buli kaseera atongoza ttulakita eziyamba abalimi naye atubulire ewaffe e Kalungu yakagabayo mmeka? okujjako zonna azireeta ne bazilabirako awo mu Lwera n’ezoolekera mu Ankole abalala ne baganyulwa.” Sewungu bwe yagambye.
Minisita Ssempijja amaze mu by’obufuzi bwa Masaka ey’awamu ebbanga ddene era yaliko Ssentebe wa Disitulikiti ye Masaka okumala ebbanga ddene gye yava nagenda yesimbawo e Kalungu East n’amegga Umar Lule Mawiya eyali omubaka waayo. Ate Sewungu ye Mubaka wa Kalungu West ekifo kye yakamalamu kati emyaka egisoba mu kkumi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com