Bya Moses Kizito Buule
ABAYIZI be Ttendekero lya Makerere Business School (MUBS) ab’egattira mu kibiina kya Bamasaba Association Group, era nga abasinga kubo Bagisu baddukiridde abatuuze be Buduuda ababuutikirwa ettaka gyebuvuddeko ne bintu eby’eyambisibwa mu bulamu obw’abulijjo.
Mu bye batutte mulimu Ssabbuuni, emifaliso, ssukaali, bulangiti ne bilala bingi, bye bakungaanyizza okuva mu banaabwe abasomera mu matendekero agali mu Kampala.
Wilfred Magomu nga ono yakulira abayizi bano bwe yabadde akuliddemu banne okuwaayo ebintu ku lw’okusatu yagambye nti kino bakikoze okusobola okuzaamu abantu mu kitundu gye bazalibwa amaanyi, saako n’okubalaga nti yadde babeera Kampala naye bwe bafuna ekizibu basigala bali bumu.
Yanyonyodde nti bagenda kulaba nga basaka ebintu ebilala okuva mu bantu sekinoomu n’amakkampuni era bongere okuwaayo eri abantu be Buduuda abaakosebwa okubumbulukuka kwe ttaka okwaliyo, kyeyagambye nti kigenda kubayambako okusobola okw’eddabulula mu bulamu obw’abulijjo, kubanga abasinga basigala ttayo.
Ssentebe wa Disitulikiti ye Buduuda James Watira bwe yabadde akwasibwa ebintu bino yasiimye abayizi ba MUBS n’abasaba obutaddiriza mutima gw’akitundu kyabwe, nti bulijjo bajjukirenga badduukirirenga mu buli kyetagisa kubanga abatuuze banaabwe basigala bubi.
“Abaana baffe mwebale byonna bye mutuletedde era tuli basanyufu nnyo okujjukira ekitundu kyammwe kale mukoze bulungi okumanya nti muli Bagisu, ekitundu kyaffe kino kiri bubi nnyo ennyumba zaasanawo zonna, ebisolo byonna byaafa, saako n’abantu baffe bangi baserengeta e magombe ne tubaziika abalala bakyabuze naye tukola ekisoboka okw’ogera ne Gavumenti esobole okutuyamba etufunire ettaka tusengule abantu baffe okubajja wano.” Watira bwe yagambye
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com