Bya Moses Kizito Buule
ABALWADDE n’abakulira edwaliro lya gavumenti elya Kojja Ntenjeru Health Centre IV elisangibwa mu Ggombolola ye Ntenjeru mu Disitulikiti ye Mukono bali mu kusatira olw’ebisaanyi ebizinzeeko eddwaliro lino nga kati bitandise okwesolossa mu zi waadi z’abalwadde ekireseewo obunkenke n’akasattiro.
Mu kiseera kino bw’otuuka ku ddwalro lino abasawo wamu n’abalwade bali kubunkenke nga batya ebisaanyi okubookya era abamu ku balwadde badduka ku bitanda nga mu kiseera kino abamu bebaaka wa bweru ku bisementi eby’atekebwawo okutuulako abalwadde ababa bazze okufuna obujjanjabi.
Abamu ku balwadde abatayagadde kwatuukiriza mannya gaabwe bategezezza nti ebisaanyi bino bibatambulirako bwe baba beebase, era nga bibatiisa nnyo, nti kyokka basiiba balajanira abasawo n’abalongoosa eddwaliro lino okubataasa naye nga tebafaayo.
Sylvester Bongole Kyejwe nga ye Ssentebe w’olukiiko olukulira eddwaliro lino ategezezza nga bwe balina obuzibu bwe bisanyi byagambye nti biva ku miti egiri okumpi n’ebizimbe bye ddwaliro, byayogeddeko nti bileteddwa nkuba esiiba efudemba.
Ategezezza nti mu kiseera kino bali mu ntekateeka ez’okugula eddagala okusobola okubifuuyira bife, kyagambye nti kino kigenda kujjawo obunkenke eri abalwadde, abajjanjabi saako n’abasawo mu kiseera kino abali mu kutya okw’ekitalo.
Ye omubaka we kitundu kino mu palimenti Johnson Muyanja Ssenyonga bweyatuuseyo yawaliriziddwa okuva mu mbeera naawa abakulira eddwaliro lino saako n’abatwala eby’obulamu mu Disitulikiti ye Mukono ennaku 2 nga ssinga tebavaayo kusala magezi kutta bisaanyi bino wakuwalilizibwa okuwandikira Minisita atwala eby’obulamu.
Mu kiseera kino abakulira eddwaliro lino bakozesa mafuta okusobola okubitta kyokka nga byonna tebisoboka kuttibwa olw’obungi bwabyo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com