EKITONGOLE kya poliisi mu Ggwanga kinenyezza ab’akakiiko ke by’empuliziganya be bagamba nti bebavaako obuzibu bw’okuvaako kwa masimu agatali gakusasulira agakozesebwa abantu abafunye obuzibu.
Kino kiddiridde abantu ab’enjawulo okwemulugunya nti bwe bafuna obuzibu bagezaako okukuba amasimu omuli eya 999 ne ndala zonna ezikozesebwa ku bwelele ne basanga nga teziriiko, oba nga eby’ogerwa nga tebiwulikika bulungi.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Luke Owoyesigire agamba nti embeera eno evudde ku kitongole kya UCC kyagamba nti bakilajanira buli kaseera okutereeza eby’empuliziganya bya Poliisi naye nga olumu bakola kasoobo, ne kivaako abantu okwemulugunya olw’empuliziganya yaabwe ne Poliisi okuba embi.
“Buli lwe tufuna obuzibu mu masimu gaffe abakulu abo tubategeeza mangu nnyo era nabo batusubiza nti babikolako, kale ffe tusigala tubalinda nga tumanyi bigenda kuterera naye naffe tulabiraawo nga tebyanguye kuterera” Owoyesigire bwe yagambye.
Okwogera bino abadde awayaamu ne banamawulire ku mbeera ey’obutemu ekyaase ennaku zino mu Kampala ne miriraano, okukwata abantu mu ngeri emenya amateeka omuli n’okubatulugunya nga kwotadde n’obubbi bwe mmundu nga n’obumu ababwetabamu ba by’akwerinda benyini.
ayongeddeko nti ennaku zino basazeewo okusaba Amaggye okubayambako mu bitundu omuli mukono, Kampala ne Wakiso nga galawuna mu budde obw’ekiro saako n’okukolawo ebikwekweto okusobola okulinya ku bubbi n’obutemu eby’elarikiriza abatuuze.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com