Bya Moses Kizito Buule
EYALI amyuka akulira yunivasite ye Makerere Pulofeesa John Ddumba Ssentamu awabudde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okulowooza ennyo ku ky’okukendeeza ku muwendo gwa ba Minisita saako n’ababaka ba palimenti bagamba nti bano basasanyizibwako omusimbi mungi mu misaala saako ne nsako zaabwe.
Pulofeesa Ddumba agamba nti ensimbi ezisasanyizibwa ku ba Minisita abasoba mu 80 saako n’ababaka mu palimenti abasoba mu 400 mpitirivu nnyo eziyinza okukozesebwa okuyamba ku bantu ba bulijjo naddala abavubuka okufuna emirimu, ate era ne n’amaSsaza agakikirirwa Ababaka mu Palimenti nago agamba gakendezebweko, nga kwotadde zi Munisipaari ne Town council ezimu zijjibwewo.
Okwogera bino yabadde ku mukolo ogw’ategekeddwa Yunivasite ye Nkumba okusobozesa abantu abalina obukugu obwenjawulo okuweebwa omwagaanya okw’ogerako n’abayizi abagenda okufula yunivasite eno ogwe 19 nga bwe balindirira amatikkira gaabwe ag’omulundi ogwa 21 agagenda okubaawo nga 27 omwezi guno.
“Kisoboka kitya minisitule 1 bweti okulonderwamu ba Minisita 5 bonna baaki ? ekyo kiba tekitegerekeka kuba baba bangi ogenda okwekanga nga batwala omusimbi mungi nnyo ogwandibadde guyamba abantu ba wansi nabo ne bagabana ku keeki ye Ggwanga.
Bw’otebereza omuwendo gw’ababaka gwe tulina mu ggwanga nga nabalala bakikirira obutundu butono nnyo tolema kwewuunya kiki kye tuliko mu Uganda, kyokka abo bonna nga basasanyizibwako omusimbi mungi mu misaala ne nsako zaabwe, kyokka nga ne kye bayamba omuntu wa bulijjo kizibu okulaba.
Kale twagala okutegeeza mukadde waffe Pulezidenti era nga tumuwabula atunule nnyo mu nsonga y’okukendeeza omuwendo gw’abanaffe bano, kubanga ate balungi basobola n’okutekebwa mu bifo ebilala era ne bayamba nnyo eGgwanga okutambula”.Ddumba bwe yategezezza.
Yayongeddeko nti abaana bangi abayivu bavudde mu Uganda ne bagenda mu nsi z’ebweru okukuba ekyeyo, nagamba nti era bafuniddeyo ebizibu bingi nnyo, kyokka nga ekibatwala bbula ly’amirimu songa bwe baba nga bafunye emirimu wano basobolera ddala okukola nga bali mu ddembe ate nga beyagalira mu nsi yaabwe.
“Ensimbi ezo singa tuzisasanyiza mu kutandikawo amakolero nga gavunanyizibwako Gavumenti era nga yevunanyizibwa n’okusasula emisaala kijja kuba kirungi nnyo, kuba tujja kuba tuwonye abaana baffe abayivu okugenda ebweru okukola emirimu gye bayisibwamu amaaso omuli okuyonja zi kabuyonjo z’abazungu, okukola obw’ayaya n’okufuuka abakuumi kye bateyagalira.
Uganda kati elina Disitulikiti 127 nga zino zikikirirwa ababaka 450.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com