Bya Moses Kizito Buule
MINISITA omubeezi ow’amazzi era nga ye mubaka wa mambuka Mukono mu palimenti Ronald Kibuule alabudde abali mu mulimu gw’okusubula ente okukomya okugula ente ezitali mu makubo matuufu, saako n’okuyambako ku be by’okwerinda okumalawo obubbi bw’ebisolo.
Kibuule agamba nti bano balina okusala amagezi ag’ekika eky’awaggulu okulaba nga bekenenyaga obw’ananyini bwe nte ze baba bagula omuli okumanya gye ziva, okukakaasa atunda nti yennanyini, nga tebanagula kino kisobozese okumalawo obubbi bwe nte obukyaase ennyo ennaku zino bwe yayogeddeko nga obuzizza emabega abalunzi.
Okw’ogera bino yabadde mu lufula esangibwa mu katale akamanyiddwanga Kame Valley akasangibwa mu Division ye Mukono ku lw’okuna bwe yabadde asisikanye abakinjaaje okulaba embeera jebakoleramu saako n’okubakumakuma basobole okutandikawo ebibiina by’obwegassi mwe banayita okufuna ku nsimbi ezigabwa Gavumenti wakati mu nkola Pulezidenti Museveni gye yatandika ey’okuyamba abasubuzi.
Ssentebe wa Bakinjaaje Sowedi Kabugo yanyonyodde okusomozebwakwe bayitamu mu mulimu guno omuli amakubo amabi mu katale kano nga kino kibawaliriza okuyisa ente mu bantu nga zitambula kye yagambye nti kyabulabe nti kuba zisobola okutomera abantu.
Mukwanukula Kibuule yabasabye okw’ekolamu ekibiina ky’obwegassi okusobola okufuna ensimbi ezinabayambako okusobola okw’ekolera ku nsonga zaabwe saako n’okwongera ku mutindo gwe bintu ebiva mu nte omuli amaliba n’amayembe gaazo.
Yanenyezza abasubuzi obutafaayo ku by’abuyonjo mu bifo we bakolera, nagamba nti tekiba kya buvunanyizibwa buli kiseera okulindanga Gavumenti ebakolere ku buli kimu nga ate ebimu babisobola nga bantu.
Kunsonga y’okuzimba akatale kano okutuukana n’omutindo gw’obutale obulala, Kibuule yategezezza ng’omukulembeze bwe yali omwetegefu okukazimba naye nti obuzibu bwali ku kyapa nga kirimu okusika omugwa ne nanyini kifo , wabula n’ategezza nti oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti ensonga eno bagigogyola,
era bwatyo nasubiza nga bwagenda okutegezza omukulembeze we ggwanga kunsonga eno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com