Bya Moses Kizito Buule
ABAVUBI abakolera mu kyondo ekimanyiddwanga Kiziru ekisangibwa mu gombolola ye Mpunge mu Disitulikiti ye Mukono bekubye mu kifuba, ne bawaayo ebyennyanja ebito byonna bye babadde bakutte mu kiro ekyakesezza olw’okusatu, saako n’obutimba bwe beyambisa okuvuba mu bukyamu eri abakulira okulwanyisa envuba embi mu kitundu kino.
Abavubi okutuuka ku kino kidiridde ekibinja kya bakwasisa envuba enkyamu nga bayambibwako amaggye okuzinda ekitundu kino nga busasaana, ne bagumba mu kamu ku busiko obulinaanye ekyondo kino, mwe basinzidde ne betegereza embeera yonna eyabaddewo nga abavubi bava mu mazzi ku makya, olwo ne balyoka babagwamu nga teri ategedde.
Eyakuliddemu ekiwendo kino Haruna Lukomwa yategezezza nti, oluvanyuma lw’okwetegereza embeera okumala akabanga, bakizudde nti abavubi baabadde bakutte obw’ennyaja obuto bungi, nga ekyetagisa kwe kumala okubasomesa n’oluvanyuma babubowe bwonna ne bitimba bye beyambisa okubuvuba.
Yategezezza nti oluvanyuma lw’omusomo abavubi basazeewo okuwaayo obwennyanja bwonna bwe babadde bavubye kyeyagalire, saako ne bitimba bye bakozesa okuvuba mu bukyamu byonna ne bitekerwa ogufumba ne bibengeya.
Ssentebe w’ekitundu kino Hamis Ssekiziyivu yagambye nti ekikolwa ekyakoleddwa abakwasisa envuba enkyamu singa kigenda mu maaso bwe kiti kiyinza okuyambako mu kukendeeza envuba embi efumbekedde mu nnyaja Nalubaale gye yayogeddeko nga eyinza okusanyaawo ennyanja, ebyenyanja ne bigirimu byonna.
Bo abavubi basabye gavumenti okubaddukirira n’obutimba obukkirizibwa mu mateeka naddala mu ntekateeka nga ez’enkola ya NAADS nti kubanga bugula buwanana bwa nsimbi abavubi bawansi ze batasobola.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com