Bya Moses Kizito Buule.
AKAKIIKO ak’atekebwawo Pulezidenti okulondoola emivuyo egiri mu ttaka mu Ggwanga lyonna akakulemberwa Omulamuzi Catherine Bamugemereire sente ezikola emirimu zikaweddeko, era n’ebekubira enduulu mu gavumenti ebawe ensimbi emirimu gigende mu maaso.
Olwaleero kwe kubadde okuggulawo entuula era Omulamuzi Bamugemereire n’ategeeza nti abantu bangi babalajanira okubayamba kukunyigirizibwa kwe balimu okuva eri abagagga naye ensimbi ezikola tewali.
‘Tumaze emyezi kati 4 nga tetusasulwa nsako yaffe kyokka nga tubadde tutambula wano n’awali nga tugezaako okuttaanya ensonga ne mirerembe egiri mu ttaka” Bamugemereire bwe yagambye.
Yayongeddeko nti bandiyagadde okutambula okusobola okutuuka mu buli kifo awali enkayana okw’etoloola Eggwanga lyonna nti naye ennaku zino ensimbi zibekubya mpi.
Akakiiko kaali kakoma okutuula mu lwatu mu gw’omusanvu omwaka guno olwe’nsimbi ez’olubatu ezaali zikawereddwa, nga batuuka n’okuba nga baali tebakyasobola kusasula ntambula y’abantu, saako ne mmere ey’abajjanga mu kakiiko okuwa obujulizi.
“Nange ne ba kkamissona bange nga kwotadde n’abanonyereza, ffenna tutuuka ekiseera nga tetusobola kutambula, kale twagala ab’ebyensimbi batuddukirire.
Mu mwaka gwa 2016 Pulezidenti Museveni yateekawo akakiiko kano kayambeko mu kugonjoola emivuyo egyali giyitiridde ku ttaka, era nga kaali kaweebwa omwaka gumu gwokka yadde nga bwe gw’aggwaako Pulezidenti yabongeza ekisanja n’okutuuka kati.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com